Add parallel Print Page Options

Emyaka Nsanvu egy’Obusibe

25 (A)Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni. (B)Awo Yeremiya nnabbi n’agamba abantu bonna aba Yuda n’abantu bonna abaali mu Yerusaalemi nti, (C)Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gy’emyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo.

(D)Newaakubadde nga Mukama abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo. Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna. (E)Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olw’ekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.”

(F)“Naye temwampuliriza, mwansunguwaza n’ekyo kye mwakola n’emikono gyammwe, era ne mwereetera akabi,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga temuwulirizza bigambo byange, (G)nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala. 10 (H)Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala. 11 (I)Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, n’amawanga gano gajja kuweereza kabaka w’e Babulooni emyaka nsanvu.

12 (J)“Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama. 13 “Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna. 14 (K)Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka ab’ekitiibwa; ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri n’emirimu gy’emikono gyabwe bwe giri.”

Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama

15 (L)Bw’ati Mukama, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini ow’obusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa. 16 (M)Bwe banaakinywa, bajja kugwa eddalu batagale olw’ekitala kye nnaabasindikamu.”

17 (N)Awo ne ntwala ekikopo okuva mu Mukono gwa Mukama ne nkitwala eri amawanga gonna gye yantuma okukibanywesa;

18 (O)Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.

19 Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, ne bakalabaalaba be, n’abakungu be n’abantu be bonna, 20 (P)n’abagwira bonna abaaliyo;

bakabaka ba Uzi bonna,

ne bakabaka b’Abafirisuuti bonna, abo ab’e Asukulooni, n’e Gaza, n’e Ekuloni, n’abantu abaalekebwa e Asudodi,

21 (Q)n’e Edomu, n’e Mowaabu n’e Ammoni,

22 (R)bakabaka bonna ab’e Tuulo ne Sidoni, bakabaka ab’oku lubalama ng’osomose ennyanja;

23 (S)Dedani, n’e Teema, n’e Buuzi n’abo bonna abali mu bifo eby’ewala,

24 (T)ne bakabaka bonna ab’e Buwalabu, ne bakabaka b’abannamawanga ababeera mu ddungu;

25 (U)ne bakabaka bonna ab’e Zimuli, n’e Eramu n’e Meedi;

26 (V)n’abo bonna bakabaka ab’omu bukiikakkono, abeewala, n’ab’okumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi.

Oluvannyuma lwabo kabaka w’e Sesaki naye balikinywa.

27 (W)“Era onoobagamba nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olw’ekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’ 28 Naye bwe bagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okukinywa, bagambe nti, ‘Kino Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba nti, Muteekwa okukinywa! 29 (X)Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.’

30 (Y)“Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti,

“ ‘Mukama Katonda anaayogerera waggulu,
    era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu
    awulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi.
Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu,
    ng’aleekaanira abo abali ku nsi.
31 (Z)Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma.
    Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gy’abavunaana,
    alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

32 (AA)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi;
    enkuba ey’amaanyi ejja kuva ku nkomerero y’ensi.”

33 (AB)Mu kiseera ekyo abo abattiddwa Mukama bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ng’obusa obulekeddwa ku ttaka.

34 (AC)Mukaabe mulaajane mmwe abasumba,
    mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu b’ebisibo.
Kubanga obudde bwammwe obw’okuttibwa butuuse
    mujja kugwa mubetentebwe ng’ebibya eby’ebbumba.
35 (AD)Abasumba tebaabeeko na buddukiro,
    n’abakulu b’ebisibo tebaabeeko na wa kwekweka.
36 Muwulire okukaaba kw’abasumba,
    okwaziirana kw’abanannyini b’ebisibo,
    kubanga Mukama alizikiriza amalundiro gaabwe.
37 Amalundiro amalungi galifuuka matongo
    olw’obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
38 (AE)Ajja kuleka ekisulo kye
    ng’empologoma bw’eva w’esula,
n’ensi yaabwe ejja kusigala njereere olw’ekitala ky’omulumbaganyi
    era n’olw’obusungu bwa Mukama obw’entiisa.

Seventy Years of Captivity

25 The word came to Jeremiah concerning all the people of Judah in the fourth year of Jehoiakim(A) son of Josiah king of Judah, which was the first year of Nebuchadnezzar(B) king of Babylon. So Jeremiah the prophet said to all the people of Judah(C) and to all those living in Jerusalem: For twenty-three years—from the thirteenth year of Josiah(D) son of Amon king of Judah until this very day—the word of the Lord has come to me and I have spoken to you again and again,(E) but you have not listened.(F)

And though the Lord has sent all his servants the prophets(G) to you again and again, you have not listened or paid any attention.(H) They said, “Turn(I) now, each of you, from your evil ways and your evil practices, and you can stay in the land(J) the Lord gave to you and your ancestors for ever and ever. Do not follow other gods(K) to serve and worship them; do not arouse my anger with what your hands have made. Then I will not harm you.”

“But you did not listen to me,” declares the Lord, “and you have aroused(L) my anger with what your hands have made,(M) and you have brought harm(N) to yourselves.”

Therefore the Lord Almighty says this: “Because you have not listened to my words, I will summon(O) all the peoples of the north(P) and my servant(Q) Nebuchadnezzar(R) king of Babylon,” declares the Lord, “and I will bring them against this land and its inhabitants and against all the surrounding nations. I will completely destroy[a](S) them and make them an object of horror and scorn,(T) and an everlasting ruin.(U) 10 I will banish from them the sounds(V) of joy and gladness, the voices of bride and bridegroom,(W) the sound of millstones(X) and the light of the lamp.(Y) 11 This whole country will become a desolate wasteland,(Z) and these nations will serve(AA) the king of Babylon seventy years.(AB)

12 “But when the seventy years(AC) are fulfilled, I will punish the king of Babylon(AD) and his nation, the land of the Babylonians,[b] for their guilt,” declares the Lord, “and will make it desolate(AE) forever. 13 I will bring on that land all the things I have spoken against it, all that are written(AF) in this book and prophesied by Jeremiah against all the nations. 14 They themselves will be enslaved(AG) by many nations(AH) and great kings; I will repay(AI) them according to their deeds and the work of their hands.”

The Cup of God’s Wrath

15 This is what the Lord, the God of Israel, said to me: “Take from my hand this cup(AJ) filled with the wine of my wrath and make all the nations to whom I send(AK) you drink it. 16 When they drink(AL) it, they will stagger(AM) and go mad(AN) because of the sword(AO) I will send among them.”

17 So I took the cup from the Lord’s hand and made all the nations to whom he sent(AP) me drink it: 18 Jerusalem(AQ) and the towns of Judah, its kings and officials, to make them a ruin(AR) and an object of horror and scorn,(AS) a curse[c](AT)—as they are today;(AU) 19 Pharaoh king(AV) of Egypt,(AW) his attendants, his officials and all his people, 20 and all the foreign people there; all the kings of Uz;(AX) all the kings of the Philistines(AY) (those of Ashkelon,(AZ) Gaza,(BA) Ekron, and the people left at Ashdod); 21 Edom,(BB) Moab(BC) and Ammon;(BD) 22 all the kings of Tyre(BE) and Sidon;(BF) the kings of the coastlands(BG) across the sea; 23 Dedan,(BH) Tema,(BI) Buz(BJ) and all who are in distant places[d];(BK) 24 all the kings of Arabia(BL) and all the kings of the foreign people(BM) who live in the wilderness; 25 all the kings of Zimri,(BN) Elam(BO) and Media;(BP) 26 and all the kings of the north,(BQ) near and far, one after the other—all the kingdoms(BR) on the face of the earth. And after all of them, the king of Sheshak[e](BS) will drink it too.

27 “Then tell them, ‘This is what the Lord Almighty, the God of Israel, says: Drink, get drunk(BT) and vomit, and fall to rise no more because of the sword(BU) I will send among you.’ 28 But if they refuse to take the cup from your hand and drink(BV), tell them, ‘This is what the Lord Almighty says: You must drink it! 29 See, I am beginning to bring disaster(BW) on the city that bears my Name,(BX) and will you indeed go unpunished?(BY) You will not go unpunished, for I am calling down a sword(BZ) on all(CA) who live on the earth,(CB) declares the Lord Almighty.’

30 “Now prophesy all these words against them and say to them:

“‘The Lord will roar(CC) from on high;
    he will thunder(CD) from his holy dwelling(CE)
    and roar mightily against his land.
He will shout like those who tread(CF) the grapes,
    shout against all who live on the earth.
31 The tumult(CG) will resound to the ends of the earth,
    for the Lord will bring charges(CH) against the nations;
he will bring judgment(CI) on all(CJ) mankind
    and put the wicked to the sword,(CK)’”
declares the Lord.

32 This is what the Lord Almighty says:

“Look! Disaster(CL) is spreading
    from nation to nation;(CM)
a mighty storm(CN) is rising
    from the ends of the earth.”(CO)

33 At that time those slain(CP) by the Lord will be everywhere—from one end of the earth to the other. They will not be mourned or gathered(CQ) up or buried,(CR) but will be like dung lying on the ground.

34 Weep and wail, you shepherds;(CS)
    roll(CT) in the dust, you leaders of the flock.
For your time to be slaughtered(CU) has come;
    you will fall like the best of the rams.[f](CV)
35 The shepherds will have nowhere to flee,
    the leaders of the flock no place to escape.(CW)
36 Hear the cry(CX) of the shepherds,(CY)
    the wailing of the leaders of the flock,
    for the Lord is destroying their pasture.
37 The peaceful meadows will be laid waste
    because of the fierce anger of the Lord.
38 Like a lion(CZ) he will leave his lair,
    and their land will become desolate(DA)
because of the sword[g] of the oppressor(DB)
    and because of the Lord’s fierce anger.(DC)

Footnotes

  1. Jeremiah 25:9 The Hebrew term refers to the irrevocable giving over of things or persons to the Lord, often by totally destroying them.
  2. Jeremiah 25:12 Or Chaldeans
  3. Jeremiah 25:18 That is, their names to be used in cursing (see 29:22); or, to be seen by others as cursed
  4. Jeremiah 25:23 Or who clip the hair by their foreheads
  5. Jeremiah 25:26 Sheshak is a cryptogram for Babylon.
  6. Jeremiah 25:34 Septuagint; Hebrew fall and be shattered like fine pottery
  7. Jeremiah 25:38 Some Hebrew manuscripts and Septuagint (see also 46:16 and 50:16); most Hebrew manuscripts anger