Add parallel Print Page Options

16 (A)Omuliro n’ekitala
    Mukama Katonda by’alibonerezesa abantu bonna,
    n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi.

Read full chapter

17 (A)“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Koowoola buli kika ky’ennyonyi n’ebisolo byonna ebikambwe obigambe nti, ‘Mukuŋŋaane, mujje okuva mu njuyi zonna eri ssaddaaka gye mbateekeddeteekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isirayiri, mulye ennyama munywe n’omusaayi. 18 (B)Mulirya ennyama ey’abalwanyi ab’amaanyi, era mulinywa omusaayi gw’abalangira ab’ensi, ng’abanywa ogw’endiga ennume n’obuliga obuto, ogw’embuzi n’ente ziseddume, zonna ensava ez’e Basani. 19 Mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mutamiira ku ssaddaaka yange gye mbategekera. 20 (C)Ku mmeeza yange mulirya embalaasi n’abazeebagala, wamu n’abalwanyi ab’amaanyi n’abasajja abaserikale aba buli kika,’ bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

(A)Balifa endwadde ez’akabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; n’emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.”

Read full chapter

(A)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
    okwetooloola Yerusaalemi,
    so nga abafudde tewali muntu abaziika.

Read full chapter