Add parallel Print Page Options

(A)Nze Mukama ndagidde abatukuvu bange
    mpise abalwanyi bange ab’amaanyi,
    babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.

(B)Muwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi,
    nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene!
Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka,
    olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu!
Mukama Katonda ow’Eggye ateekateeka
    eggye lye okulwana.
(C)Bava wala mu nsi ezeewala ennya
    okuva ku nkomerero y’eggulu.
Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa
    eby’okuzikiriza ensi yonna.

Read full chapter

15 (A)Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka
    mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi,
balizinda bbugwe waakyo yenna
    era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda.

Read full chapter

(A)Kaakano ŋŋenda kuwaayo amawanga gammwe eri omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’ensolo ez’omu nsiko nzija kuziteeka wansi we.

Read full chapter

16 (A)Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
    ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
    era ne banyeenya emitwe gyabwe.

Read full chapter