Add parallel Print Page Options

(A)Okujaguza kw’ebitaasa kusirise,
    n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise,
    entongooli esanyusa esirise.

Read full chapter

13 (A)Ndikomya okuyimba kwo, era n’amaloboozi ag’ennanga zo tegaliwulirwa nate.

Read full chapter

34 (A)olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.

Read full chapter

abakuumi b’enju mwe balikankanira,
    n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa,
nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono,
    n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;
(A)nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo,
    n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde;
ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi,
    naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;

Read full chapter

22 (A)Mu ggwe temuliwulirwa nate ddoboozi lya bayimbi,
    n’abakubi b’ennanga n’ery’abafuuyi b’endere, n’ery’abafuuyi b’eŋŋombe.
Mu ggwe temulisangibwamu muweesi
    wadde okuweesa okw’engeri yonna,
newaakubadde okuvuga kw’olubengo nga basa
    tekuliwulirwa mu ggwe.
23 (B)Ekitangaala ky’ettabaaza ng’eyaka
    tekirirabikira mu ggwe nate,
kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna,
    era walimbalimba amawanga gonna n’eby’obulogo bwo.

Read full chapter