Add parallel Print Page Options

26 Natunula, era laba, ensi ey’ebibala ebingi ng’efuuse ddungu,
    era n’ebibuga byayo byonna nga byonoonese, mu maaso ga Mukama,
    olw’obusungu bwe obungi.

27 (A)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“Ensi yonna eriyonoonebwa,
    wadde nga sirigizikiririza ddala.

Read full chapter

11 (A)Eyonooneddwa efuuse ddungu
    esigadde awo ng’enkaabirira.
Ensi yonna efuuse matongo
    kubanga tewali muntu n’omu agifaako.
12 (B)Abanyazi bazze
    batuuse ku nsozi zonna ez’omu ddungu,
kubanga ekitala kya Mukama kijja kulya
    okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala,
    awataliiwo n’omu kuwona.

Read full chapter

21 (A)Ensi n’ekuuma ssabbiiti zaayo, ekiseera kyonna kye yamala mu kubonaabona kwayo okutuusa emyaka ensanvu bwe gyagwako, ng’ekyo kituukiriza ekigambo Mukama kye yayogera mu Yeremiya.

Read full chapter