Add parallel Print Page Options

Olugero lw’Ekita

12 “Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’ 13 (A)Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi. 14 (B)Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”

Read full chapter

17 (A)Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ng’atandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?

Read full chapter

31 (A)Obanga omutuukirivu alifuna ekimusaanidde ku nsi kuno,
    oyo atatya Katonda n’omwonoonyi balirema obutafuna ekibasaanidde?

Read full chapter

30 (A)“Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti,

“ ‘Mukama Katonda anaayogerera waggulu,
    era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu
    awulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi.
Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu,
    ng’aleekaanira abo abali ku nsi.
31 (B)Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma.
    Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gy’abavunaana,
    alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter