Add parallel Print Page Options

Okubala Abantu

(A)Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri[a]. N’amugamba nti: (B)“Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala. (C)Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe. (D)Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe.

(E)“Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako:

“Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;

mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;

(F)mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;

(G)mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;

(H)mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.

10 (I)Okuva mu baana ba Yusufu:

mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi;

mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.

11 Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;

12 (J)mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;

13 (K)mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;

14 (L)mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;

15 (M)mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”

16 (N)Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.

Ebika n’obunene bwabyo

17 Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe, 18 (O)ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala, 19 nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi:

20 (P)Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 21 Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).

22 (Q)Ab’omu bazzukulu ba Simyoni:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 23 Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).

24 (R)Ab’omu bazzukulu ba Gaadi:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali. 25 Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).

26 (S)Ab’omu bazzukulu ba Yuda:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 27 Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).

28 (T)Ab’omu bazzukulu ba Isakaali:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 29 Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).

30 (U)Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 31 Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).

32 (V)Okuva mu batabani ba Yusufu:

Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 33 Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).

34 (W)Ab’omu bazzukulu ba Manase:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 35 Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).

36 (X)Ab’omu bazzukulu ba Benyamini:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 37 Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).

38 (Y)Ab’omu bazzukulu ba Ddaani:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 39 Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).

40 (Z)Ab’omu bazzukulu ba Aseri:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 41 Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).

42 (AA)Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 43 Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

44 (AB)Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye. 45 Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe. 46 (AC)Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).

Abaleevi bo Tebaabalibwa

47 (AD)Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa. 48 Kubanga Mukama Katonda yali agambye Musa nti, 49 “Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.” 50 (AE)Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola. 51 (AF)Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga. 52 (AG)Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe. 53 (AH)Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Obujulirwa, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa.”

54 Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Footnotes

  1. 1:1 Kino kyabaawo oluvannyuma lw’omwezi gumu nga Abayisirayiri batuuse mu ddungu lya Sinaayi (Kuv 9:1), ate nga wayiseewo omwezi gumu bukya Eweema ya Mukama ezimbibwa (Kuv 40:17), ate n’oluvannyuma lw’ennaku kkumi na ttaano nga kyebajje bakwate Embaga ey’Okuyitako mu Sinaayi

The Census

The Lord spoke to Moses in the tent of meeting(A) in the Desert of Sinai(B) on the first day of the second month(C) of the second year after the Israelites came out of Egypt.(D) He said: “Take a census(E) of the whole Israelite community by their clans and families,(F) listing every man by name,(G) one by one. You and Aaron(H) are to count according to their divisions all the men in Israel who are twenty years old or more(I) and able to serve in the army.(J) One man from each tribe,(K) each of them the head of his family,(L) is to help you.(M) These are the names(N) of the men who are to assist you:

from Reuben,(O) Elizur son of Shedeur;(P)

from Simeon,(Q) Shelumiel son of Zurishaddai;(R)

from Judah,(S) Nahshon son of Amminadab;(T)

from Issachar,(U) Nethanel son of Zuar;(V)

from Zebulun,(W) Eliab son of Helon;(X)

10 from the sons of Joseph:

from Ephraim,(Y) Elishama son of Ammihud;(Z)

from Manasseh,(AA) Gamaliel son of Pedahzur;(AB)

11 from Benjamin,(AC) Abidan son of Gideoni;(AD)

12 from Dan,(AE) Ahiezer son of Ammishaddai;(AF)

13 from Asher,(AG) Pagiel son of Okran;(AH)

14 from Gad,(AI) Eliasaph son of Deuel;(AJ)

15 from Naphtali,(AK) Ahira son of Enan.(AL)

16 These were the men appointed from the community, the leaders(AM) of their ancestral tribes.(AN) They were the heads of the clans of Israel.(AO)

17 Moses and Aaron took these men whose names had been specified, 18 and they called the whole community together on the first day of the second month.(AP) The people registered their ancestry(AQ) by their clans and families,(AR) and the men twenty years old or more(AS) were listed by name, one by one, 19 as the Lord commanded Moses. And so he counted(AT) them in the Desert of Sinai:

20 From the descendants of Reuben(AU) the firstborn son(AV) of Israel:

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were listed by name, one by one, according to the records of their clans and families. 21 The number from the tribe of Reuben(AW) was 46,500.

22 From the descendants of Simeon:(AX)

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were counted and listed by name, one by one, according to the records of their clans and families. 23 The number from the tribe of Simeon was 59,300.(AY)

24 From the descendants of Gad:(AZ)

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were listed by name, according to the records of their clans and families. 25 The number from the tribe of Gad(BA) was 45,650.

26 From the descendants of Judah:(BB)

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were listed by name, according to the records of their clans and families. 27 The number from the tribe of Judah(BC) was 74,600.

28 From the descendants of Issachar:(BD)

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were listed by name, according to the records of their clans and families. 29 The number from the tribe of Issachar(BE) was 54,400.(BF)

30 From the descendants of Zebulun:(BG)

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were listed by name, according to the records of their clans and families. 31 The number from the tribe of Zebulun was 57,400.(BH)

32 From the sons of Joseph:(BI)

From the descendants of Ephraim:(BJ)

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were listed by name, according to the records of their clans and families. 33 The number from the tribe of Ephraim(BK) was 40,500.

34 From the descendants of Manasseh:(BL)

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were listed by name, according to the records of their clans and families. 35 The number from the tribe of Manasseh was 32,200.

36 From the descendants of Benjamin:(BM)

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were listed by name, according to the records of their clans and families. 37 The number from the tribe of Benjamin(BN) was 35,400.

38 From the descendants of Dan:(BO)

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were listed by name, according to the records of their clans and families. 39 The number from the tribe of Dan was 62,700.(BP)

40 From the descendants of Asher:(BQ)

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were listed by name, according to the records of their clans and families. 41 The number from the tribe of Asher(BR) was 41,500.

42 From the descendants of Naphtali:(BS)

All the men twenty years old or more who were able to serve in the army were listed by name, according to the records of their clans and families. 43 The number from the tribe of Naphtali(BT) was 53,400.(BU)

44 These were the men counted by Moses and Aaron(BV) and the twelve leaders of Israel, each one representing his family. 45 All the Israelites twenty years old or more(BW) who were able to serve in Israel’s army were counted according to their families.(BX) 46 The total number was 603,550.(BY)

47 The ancestral tribe of the Levites,(BZ) however, was not counted(CA) along with the others. 48 The Lord had said to Moses: 49 “You must not count the tribe of Levi or include them in the census of the other Israelites. 50 Instead, appoint the Levites to be in charge of the tabernacle(CB) of the covenant law(CC)—over all its furnishings(CD) and everything belonging to it. They are to carry the tabernacle and all its furnishings; they are to take care of it and encamp around it. 51 Whenever the tabernacle(CE) is to move,(CF) the Levites are to take it down, and whenever the tabernacle is to be set up, the Levites shall do it.(CG) Anyone else who approaches it is to be put to death.(CH) 52 The Israelites are to set up their tents by divisions, each of them in their own camp under their standard.(CI) 53 The Levites, however, are to set up their tents around the tabernacle(CJ) of the covenant law so that my wrath will not fall(CK) on the Israelite community. The Levites are to be responsible for the care of the tabernacle of the covenant law.(CL)

54 The Israelites did all this just as the Lord commanded Moses.