Add parallel Print Page Options

44 Ab’omu kika kya Aseri ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Imuna, lwe lunyiriri lw’Abayimuna;

abaava mu Isuvi, lwe lunyiriri lw’Abayisuvi;

abaava mu Beriya, lwe lunyiriri lw’Ababeriya.

45 Ate okuva mu bazzukulu ba Beriya, ze zino:

abaava mu Keberi, lwe lunyiriri lw’Abakeberi;

abaava mu Malukiyeeri, lwe lunyiriri lw’Abamalukiyeeri.

46 Aseri yalina omwana omuwala erinnya lye nga ye Seera.

47 (A)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

Read full chapter

ab’omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

Read full chapter