Add parallel Print Page Options

38 (A)Ab’omu kika kya Benyamini ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Bera, lwe lunyiriri lw’Ababera;

abaava mu Asuberi, lwe lunyiriri lw’Abasuberi

abaava mu Akiramu, lwe lunyiriri lw’Abakiramu

39 abaava mu Sufamu, lwe lunyiriri lw’Abasufamu;

abaava mu Kufamu, lwe lunyiriri lw’Abakufamu.

40 (B)Abazzukulu ba Bera nga bava mu Aluda ne Naamani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Aluda, lwe lunyiriri lw’Abaluda;

abaava mu Naamani, lwe lunyiriri lw’Abanaamani.

41 (C)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).

Read full chapter

17 (A)Okuva mu Benyamini:

Eriyada, omuserikale omuzira, eyaduumiranga abasajja ab’obusaale n’engabo emitwalo amakumi abiri (200,000),

Read full chapter

ab’omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Abo be baateekebwako akabonero k’envumbo.

Read full chapter