Add parallel Print Page Options

28 Ab’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.

29 (A)Ab’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Makiri, lwe lunyiriri lw’Abamakiri, Makiri ye yali kitaawe wa Gireyaadi.

Abaava mu Gireyaadi, lwe lunyiriri lw’Abagireyaadi.

30 (B)Ab’omu kika kya Gireyaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Yezeeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri,

abaava mu Kereki, lwe lunyiriri lw’Abakereki;

31 abaava mu Asuliyeri, lwe lunyiriri lw’Abasuliyeri,

abaava mu Sekemu, lwe lunyiriri lw’Abasekemu:

32 abaava mu Semida, lwe lunyiriri lw’Abasemida;

abaava mu Keferi, lwe lunyiriri lw’Abakeferi.

33 (C)Zerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.

34 (D)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).

Read full chapter

ab’omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

Read full chapter