Add parallel Print Page Options

35 (A)Era Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi, n’agamba nti, “Ku luno nzija kutendereza Mukama,” kyeyava amutuuma Yuda; n’alekayo okuzaala.

Read full chapter

19 (A)Eri ne Onani baali batabani ba Yuda, naye ne bafiira mu nsi ya Kanani.

20 (B)Ab’omu kika kya Yuda ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Seera, lwe lunyiriri lw’Abaseera;

abaava mu Pereezi, lwe lunyiriri lw’Abapereezi;

abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera.

21 (C)Bazzukulu ba Pereezi be bano:

abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni

abaava mu Kamuli, lwe lunyiriri lw’Abakamuli.

22 (D)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano (76,500).

Read full chapter

(A)Ibulayimu yazaala Isaaka,

Isaaka n’azaala Yakobo,

Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.

Read full chapter

Ab’omu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

ab’omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),

Read full chapter