Add parallel Print Page Options

Okutwalibwa kwa Eriya mu Ggulu

(A)Awo Mukama bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi, nga Eriya ne Erisa bava e Girugaali, (B)Eriya n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Beseri[a] Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”

Awo ne baserengeta bonna e Beseri. (C)Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?”

Erisa n’abaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.”

(D)Eriya n’addamu omulundi ogwokubiri n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Yeriko Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”

Awo ne bagenda bonna e Yeriko.

(E)Awo ekibiina ekya bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Weewaawo nkimanyi, naye temukyogerako.”

(F)Eriya n’addamu nate n’amugamba nti, “Sigala wano, nserengete ku Yoludaani Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”

Awo ne batambula bombi.

Ne waba ekibiina kya bannabbi amakumi ataano abaali bayimiridde akabanga okuva Eriya ne Erisa we baali ku lubalama lw’omugga Yoludaani. (G)Awo Eriya n’addira omunagiro gwe n’aguzinga wamu n’akuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu.

(H)Awo bwe baamala okusomoka, Eriya n’abuuza Erisa nti, “Kiki ky’oyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa n’amuddamu nti, “Nkusaba, nsikire emigabo ebiri egy’Omwoyo akuliko.” 10 N’amugamba nti, “Ky’osabye kigambo kizibu, naye bw’onondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bw’osabye, naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.” 11 (I)Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali ey’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya n’atwalibwa mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi. 12 (J)Awo Erisa bwe yalaba ekyo, n’ayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa n’ataddamu kumulaba nate. N’addira engoye ze yali ayambadde, n’aziyuzaayuza.

13 Waaliwo omunagiro ogwali gusuulibbwa Eriya ng’atwalibwa mu ggulu, era ogwo Erisa gwe yalonda n’addayo ku mugga Yoludaani n’ayimirira ku lubalama lw’omugga. 14 (K)N’addira omunagiro gwe yali alonze n’aguzinga n’akuba amazzi n’ayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, n’asomoka.

15 (L)Awo ekibiina ekya bannabbi abaali mu Yeriko ne bayogera nti, “Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa.” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira. 16 (M)Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa Mukama amututte n’amuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.”

Erisa n’abaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.”

17 (N)Naye bwe baamuwaliriza, n’atendewalirwa, n’abagamba nti, “Kale, mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonya okumala ennaku ssatu naye ne batamulaba. 18 Bwe bakomawo gy’ali mu Yeriko, n’abagamba nti, “Saabalabudde obutagenda?”

Okutukuzibwa kwa Mazzi

19 Awo abasajja ab’omu kibuga ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, ekibuga kino kiri mu kifo kirungi, nga nawe bw’olaba, naye amazzi gaamu mabi, era n’ensi si njimu.” 20 N’abagamba nti, “Mundeetere ebbakuli empya nga mutaddemu omunnyo.” Ne bagimuleetera. 21 (O)N’aserengeta ku nsulo ey’amazzi, n’ayiwamu omunnyo, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’ ” 22 (P)Amazzi ne galongooka, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Erisa bwe kyali, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.

Abavubuka basekerera Erisa

23 (Q)Erisa bwe yava eyo n’akwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ng’ali mu kkubo, n’asisinkana abavubuka ab’omu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe ow’ekiwalaata! Mulabe ow’ekiwalaata!” 24 (R)N’akyuka n’abatunuulira, n’abakolimira mu linnya lya Mukama. Awo ebisolo ebinene bibiri eby’ekika eky’eddubu ne biva mu kibira ne bitaagulataagula abavubuka amakumi ana mu babiri ku bo. 25 (S)Ne yeeyongerayo n’alaga ku Lusozi Kalumeeri, oluvannyuma n’addayo e Samaliya[b].

Footnotes

  1. 2:2 Beseri kyali kibuga kikulu okuviira ddala mu biseera bya bajjajja aboogerebwako mu Bayibuli (Lub 12:8; 22:10-22; 35:1-5). Yerobowaamu yali azimbyeyo yeekaalu okuvuganya ne Yeekaalu eyali ezimbiddwa mu Yerusaalemi (1Bk 12:28-33).
  2. 2:25 Erisa yabeeranga mu Samaliya.

Elijah Taken Up to Heaven

When the Lord was about to take(A) Elijah up to heaven in a whirlwind,(B) Elijah and Elisha(C) were on their way from Gilgal.(D) Elijah said to Elisha, “Stay here;(E) the Lord has sent me to Bethel.”

But Elisha said, “As surely as the Lord lives and as you live, I will not leave you.”(F) So they went down to Bethel.

The company(G) of the prophets at Bethel came out to Elisha and asked, “Do you know that the Lord is going to take your master from you today?”

“Yes, I know,” Elisha replied, “so be quiet.”

Then Elijah said to him, “Stay here, Elisha; the Lord has sent me to Jericho.(H)

And he replied, “As surely as the Lord lives and as you live, I will not leave you.” So they went to Jericho.

The company(I) of the prophets at Jericho went up to Elisha and asked him, “Do you know that the Lord is going to take your master from you today?”

“Yes, I know,” he replied, “so be quiet.”

Then Elijah said to him, “Stay here;(J) the Lord has sent me to the Jordan.”(K)

And he replied, “As surely as the Lord lives and as you live, I will not leave you.”(L) So the two of them walked on.

Fifty men from the company of the prophets went and stood at a distance, facing the place where Elijah and Elisha had stopped at the Jordan. Elijah took his cloak,(M) rolled it up and struck(N) the water with it. The water divided(O) to the right and to the left, and the two of them crossed over on dry(P) ground.

When they had crossed, Elijah said to Elisha, “Tell me, what can I do for you before I am taken from you?”

“Let me inherit a double(Q) portion of your spirit,”(R) Elisha replied.

10 “You have asked a difficult thing,” Elijah said, “yet if you see me when I am taken from you, it will be yours—otherwise, it will not.”

11 As they were walking along and talking together, suddenly a chariot of fire(S) and horses of fire appeared and separated the two of them, and Elijah went up to heaven(T) in a whirlwind.(U) 12 Elisha saw this and cried out, “My father! My father! The chariots(V) and horsemen of Israel!” And Elisha saw him no more. Then he took hold of his garment and tore(W) it in two.

13 Elisha then picked up Elijah’s cloak that had fallen from him and went back and stood on the bank of the Jordan. 14 He took the cloak(X) that had fallen from Elijah and struck(Y) the water with it. “Where now is the Lord, the God of Elijah?” he asked. When he struck the water, it divided to the right and to the left, and he crossed over.

15 The company(Z) of the prophets from Jericho, who were watching, said, “The spirit(AA) of Elijah is resting on Elisha.” And they went to meet him and bowed to the ground before him. 16 “Look,” they said, “we your servants have fifty able men. Let them go and look for your master. Perhaps the Spirit(AB) of the Lord has picked him up(AC) and set him down on some mountain or in some valley.”

“No,” Elisha replied, “do not send them.”

17 But they persisted until he was too embarrassed(AD) to refuse. So he said, “Send them.” And they sent fifty men, who searched for three days but did not find him. 18 When they returned to Elisha, who was staying in Jericho, he said to them, “Didn’t I tell you not to go?”

Healing of the Water

19 The people of the city said to Elisha, “Look, our lord, this town is well situated, as you can see, but the water is bad and the land is unproductive.”

20 “Bring me a new bowl,” he said, “and put salt in it.” So they brought it to him.

21 Then he went out to the spring and threw(AE) the salt into it, saying, “This is what the Lord says: ‘I have healed this water. Never again will it cause death or make the land unproductive.’” 22 And the water has remained pure(AF) to this day, according to the word Elisha had spoken.

Elisha Is Jeered

23 From there Elisha went up to Bethel. As he was walking along the road, some boys came out of the town and jeered(AG) at him. “Get out of here, baldy!” they said. “Get out of here, baldy!” 24 He turned around, looked at them and called down a curse(AH) on them in the name(AI) of the Lord. Then two bears came out of the woods and mauled forty-two of the boys. 25 And he went on to Mount Carmel(AJ) and from there returned to Samaria.