Add parallel Print Page Options

Okuyitibwa kwa Erisa

19 (A)Awo Eriya n’ava eyo n’asisinkana Erisa mutabani wa Safati ng’alima n’emigogo gy’ente kkumi n’ebiri, ye ng’alimisa ogw’ekkumi n’ebiri. Eriya n’agenda gy’ali n’amusuulako omunagiro gwe.

Read full chapter

14 (A)N’addira omunagiro gwe yali alonze n’aguzinga n’akuba amazzi n’ayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, n’asomoka.

Read full chapter

Okuyita mu Nnyanja Emyufu

21 (A)Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n’asindika ku nnyanja embuyaga ez’amaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ng’amazzi gayawuddwamu.

Read full chapter

22 (A)Abaana ba Isirayiri ne bayita wakati mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu, ng’amazzi gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n’olwa kkono.

Read full chapter

29 (A)Naye abaana ba Isirayiri bo nga batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja, amazzi nga gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo ne ku lwa kkono.

Read full chapter