Add parallel Print Page Options

(A)Eriya n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Beseri[a] Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”

Awo ne baserengeta bonna e Beseri.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:2 Beseri kyali kibuga kikulu okuviira ddala mu biseera bya bajjajja aboogerebwako mu Bayibuli (Lub 12:8; 22:10-22; 35:1-5). Yerobowaamu yali azimbyeyo yeekaalu okuvuganya ne Yeekaalu eyali ezimbiddwa mu Yerusaalemi (1Bk 12:28-33).

15 (A)Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera eky’amakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani.

Read full chapter

16 (A)Naye Luusi n’amwegayirira ng’agamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gy’onoogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange.

Read full chapter