Add parallel Print Page Options

28 (A)Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.” 29 (B)Emu n’agiteeka mu Beseri n’endala mu Ddaani. 30 (C)Ekintu ekyo ne kiba kibi nnyo, kubanga abantu baatuuka n’okugenda e Ddaani okusinza ekifaananyi ky’ennyana ekyali kiteekeddwa eyo.

31 (D)Yerobowaamu n’azimba amasabo mu bifo ebigulumivu n’alonda bakabona[a] ng’abaggya mu bantu abaabulijjo, newaakubadde nga tebaali ba kika kya Leevi. 32 (E)N’akola embaga ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana, okufaanana n’embaga ebeerawo mu Yuda, era n’awaayo ebyokebwa ku kyoto. Kino yakikola mu Beseri ng’awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola. N’assa bakabona mu bifo ebigulumivu bye yali akoze e Beseri. 33 (F)Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana gwe yeerondera, n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kye yazimba e Beseri. Era n’assaawo embaga Abayisirayiri gye baakuumanga, n’ayambukanga ne ku kyoto okuwaayo ebyokebwa.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:31 Yerobowaamu yalonda bakabona abataali ba kika kya Leevi, kubanga Abaleevi abasinga obungi baali baddukidde eri Lekobowaamu (2By 11:13-17)