Add parallel Print Page Options

24 (A)Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.

Read full chapter

(A)Olw’okukkiriza Enoka yatwalibwa nga taleze ku kufa, n’atalabika kubanga Katonda yamutwala. Bwe yali tannamutwala, yayogera nga Enoka bwe yamusanyusa.

Read full chapter

11 (A)Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali ey’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya n’atwalibwa mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi.

Read full chapter

11 (A)Mukama n’amugamba nti, “Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama, kubanga Mukama ali kumpi kuyitawo.”

Kale laba, embuyaga nnyingi ey’amaanyi n’emenya ensozi n’eyasa n’enjazi mu maaso ga Eriya, naye Mukama nga taliimu. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi ow’amaanyi n’ayita naye era Mukama nga taliimu.

Read full chapter

28 (A)Obusaale bwabwe bwogi,
    n’emitego gyabwe gyonna mireege.
Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale,
    Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.

Read full chapter

15 (A)“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
    era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.
Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi
    era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.

Read full chapter

13 (A)Laba ajja ng’ebire,
    amagaali ge ng’empewo y’akazimu,
embalaasi ze zidduka okusinga empungu;
    zitusanze ffe kubanga tuzikiridde!

Read full chapter

(A)Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi
    era tayinza n’akatono butabonereza oyo gwe gusinze.
Ekkubo lye liri mu mpewo ey’akazimu ne mu kibuyaga,
    n’ebire ye nfuufu y’ebigere bye.

Read full chapter

16 (A)ne ku Yeeku mutabani wa Nimusi okuba kabaka wa Isirayiri, ate era ofuke n’amafuta ku Erisa mutabani wa Safati ow’e Aberumekola okudda mu kifo kyo.

Read full chapter

21 (A)Awo Erisa n’amulekako akabanga, n’addayo, n’agenda n’asala omugogo gw’ente, ennyama n’agifumbisa ebiti by’enkumbi, n’agabira abantu ne balya. Awo n’agolokoka n’agoberera Eriya era n’amuweerezanga.

Read full chapter

30 (A)Ensozi ezo ziri mitala wa Yoludaani ku ludda olw’ebugwanjuba obw’oluguudo ng’oyolekedde enjuba gy’egwa, okumpi n’emiti eminene egy’e Mole, mu nsi y’Abakanani ababeera mu Alaba ku miriraano gya Girugaali.

Read full chapter

Erisa n’Enva Ezirimu Obutwa

38 (A)Oluvannyuma, Erisa ng’azeeyo e Girugaali, ate nga mu kiseera kye kimu enjala egudde mu nsi, ekibiina kya bannabbi ne bakuŋŋaanira ewuwe. N’agamba omuweereza we nti, “Abaana ba bannabbi bafumbireyo enva mu ntamu ennene.”

Read full chapter