Add parallel Print Page Options

Okuyitako

12 Awo Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni nga bali mu nsi y’e Misiri, n’abagamba nti, (A)“Okuva leero omwezi[a] guno gwe gunaabanga omubereberye mu myezi gyonna mu mwaka gwammwe. Mutegeeze abantu bonna aba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno kigwanidde buli mukulu wa nnyumba, addire omwana gw’endiga ogw’okuliibwa mu maka ge, buli maka omwana gw’endiga gumu. Singa amaka gabaamu abantu batono nnyo abatamalaawo mwana gwa ndiga, amaka ago geegatte n’ag’omuliraano balye omwana gw’endiga ogwo. Muligeraageranya obungi bw’abantu abamalawo omwana gw’endiga nga musinziira ku ndya ya buli omu mu maka omwo. (B)Omwana gw’endiga gusaana gube gwa seddume nga gwa mwaka gumu obukulu, era nga teguliiko kamogo. Guyinza okuba omwana gw’endiga oba ogw’embuzi. (C)Ensolo ezo muzirabiriranga okutuusa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno; ekibiina kyonna eky’abantu ba Isirayiri ne kiryoka kizitta akawungeezi. Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gw’oluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gw’endiga. (D)Mu kiro ekyo ennyama balyanga njokye ku muliro, era baliirangako n’emigaati egitali mizimbulukuse n’enva ezikaawa. Tewabanga ku nnyama eyo gye mulya nga mbisi obanga efumbwa mu mazzi; wabula mugyokyanga ku muliro: omutwe, amagulu n’eby’omunda byonna. 10 (E)Temugiterekangako kutuusa nkeera; bw’ebalemanga eggulolimu, mugyokyanga bwokya ne mugizikiriza. 11 (F)Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde n’engatto zammwe[b], nga mukutte n’omuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo y’Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama.

12 (G)“Kubanga mu kiro ekyo ndiyita mu nsi ya Misiri, nditta buli kibereberye kyonna mu nsi y’e Misiri, abantu era n’ebisolo; era bakatonda bonna ab’omu Misiri ndibasalira omusango. Nze Mukama. 13 Omusaayi ke kaliba akabonero akalaga ennyumba mwe muli; era bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako; so n’okuzikirira kwe ndireeta ku Bamisiri mmwe tekulibakwatako.

Okukwata Wiiki y’Okuyitako

14 (H)“Olunaku luno lunaababeereranga lwa kijjukizo, era munaalukuumanga ne mulukwata nga lwa mbaga ya Mukama mu mirembe gyammwe gyonna egiriddiriŋŋana. Lino lifuuse tteeka ery’emirembe gyonna. 15 (I)Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse[c] okumala ennaku musanvu; era ku lunaku olusooka, mu nnaku ezo omusanvu, ekizimbulukusa mukiggiranga ddala mu nnyumba zammwe, kubanga alivumbulwa ng’alidde omugaati ogulimu ekizimbulukusa, okuva ku lunaku olusooka okutuusa ku lunaku olw’omusanvu, aligobebwa mu Isirayiri. 16 Ku lunaku olusooka wanaabangawo olukuŋŋaana olutukuvu, ne ku lunaku olw’omusanvu munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu; ennaku ezo temuzikolerangako mulimu gwa ngeri yonna, okuggyako okufumba emmere abantu bonna gye banaalya, kye kyokka kye mujjanga okukola.

17 (J)“Mukwatanga Embaga ey’Emigati Egitali mizimbulukuse, kubanga ku lunaku luno lwennyini kwe naggyira ebika bya Isirayiri mu nsi y’e Misiri. Noolwekyo olunaku luno munaalukwatanga n’ab’omu mirembe gyonna egiriddawo. Ekyo kiragiro eky’emirembe n’emirembe. 18 (K)Mu mwezi ogusooka, munaalyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa, okuva mu kawungeezi ak’olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, okutuusa ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu olw’omwezi ogwo. 19 Okumala ennaku musanvu mu nnyumba zammwe temulabikangamu ekizimbulukusa; era alivumbulwa ng’alidde ekintu kyonna omuli ekizimbulukusa, agenda kugobwa mu Isirayiri, ne bwaliba omuzaaliranwa oba omugwira. 20 Temulyanga kintu kyonna omuli ekizimbulukusa; mu nnyumba zammwe mwe musula yonna, mulyanga emigaati egitali mizimbulukuse.”

Omwana gw’Endiga ogw’Okuyitako Guttibwa

21 (L)Awo Musa n’ayita abakulembeze ba Isirayiri bonna, n’abagamba nti, “Mwerondere abaana b’endiga ng’amaka gammwe bwe gali, mutte omwana gw’endiga ogw’Okuyitako. 22 (M)Musibe bulungi akaddo k’akakubansiri, mukannyike mu musaayi gwe mutadde mu bensani, mulyoke mumansire ku mwango gw’oluggi waggulu, ne ku njuyi zombi ez’omwango. Tewabaawo n’omu afuluma ennyumba ye okutuusa ng’obudde bukedde. 23 (N)Kubanga Mukama ajja kuyita awo ng’agenda okutta Abamisiri; kale bw’anaalaba omusaayi ku mwango gw’oluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi z’oluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe n’okubatta.

24 “Kibagwanira okugondera ebiragiro bino ng’etteeka, mmwe ne batabani bammwe emirembe gyonna. 25 Era bwe muliyingira mu nsi Mukama gy’alibawa nga bwe yasuubiza, temwerabiranga mukolo guno. 26 (O)Abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’ 27 (P)Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ ” Awo abantu ne bavuunama ne basinza. 28 Abaana ba Isirayiri ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.

Ebibereberye Bittibwa

29 (Q)Awo ekiro mu ttumbi Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri, okuviira ddala ku mubereberye wa Falaawo eyali ow’okumusikira, okutuuka ku mubereberye w’omusibe ali mu kkomera; era n’ente embereberye zonna. 30 (R)Falaawo n’azuukuka mu kiro wakati, ye n’abaweereza be bonna, n’Abamisiri bonna; Misiri yonna n’ejjula okukungubaga, kubanga tewaaliwo nnyumba n’emu omutaafa muntu.

31 (S)Mu kiro ekyo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Musituke! Mutuviire, nze n’abantu bange, mmwe n’abaana ba Isirayiri. Mugende musinze Mukama nga bwe mwansaba. 32 (T)Mutwale amagana gammwe n’ebisibo byammwe nga bwe mwansaba, mugende; nange munsabirangayo omukisa!”

33 (U)Awo Abamisiri ne basindiikiriza abaana ba Isirayiri banguwe okubaviira mu nsi yaabwe; kubanga baagamba nti, “Ffenna tufa tuggwaawo!” 34 Abaana ba Isirayiri ne baddira obuwunga bwabwe obw’emigaati obugotte, obutaliimu kizimbulukusa, ne babussa mu bbakuli omufumbirwa emigaati, ne babuzinga mu ngoye zaabwe, ne babutwalira ku bibegabega byabwe. 35 (V)Baakola nga Musa bwe yabalagira, ne basaba Abamisiri eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu, awamu n’ebyambalo. 36 (W)Mukama yali aleetedde abaana ba Isirayiri okuganja mu Bamisiri, bwe batyo ne baweebwa buli kye baasabanga. Ne baleka nga bakalizza Abamisiri.

Abayisirayiri Basitula Okuva mu Misiri

37 (X)Awo abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Lameseesi ne batuuka e Sukkosi. Baali abantu ng’emitwalo nkaaga, ng’abakazi n’abaana tebabaliddwa. 38 (Y)Waaliwo n’abantu abalala bangi abaagenda nabo. Baatwala amagana g’ente mangi, n’ebisibo, bingi nnyo. 39 (Z)Ne beefumbira emigaati mu buwunga obugotte bwe baggya mu Misiri, naye tegyalimu kizimbulukusa, kubanga baasindiikirizibwa busindiikirizibwa okuva mu Misiri, ne bataba na budde bwa kwefumbira mmere.

40 (AA)Emyaka abaana ba Isirayiri gye baamala mu Misiri gyawera ebikumi bina mu amakumi asatu. 41 (AB)Ku lunaku olwasembayo olwaweza emyaka ebikumi ebina mu asatu, eggye lya Mukama eryo lyonna kwe lyasitulira ne liva mu nsi y’e Misiri. 42 (AC)Mukama yali bulindaala ekiro ky’olunaku olwo, n’aggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri; noolwekyo abaana ba Isirayiri banajjukiranga Mukama ekiro ky’olunaku olwo emirembe gyabwe gyonna.

Ebiragiro by’Embaga ey’Okuyitako

43 (AD)Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Bino by’ebiragiro by’Okuyitako:

“Omunaggwanga takkirizibwa kugiryako. 44 (AE)Omuddu aguliddwa n’ensimbi akkirizibwa okugiryako singa amala okukomolebwa; 45 (AF)naye omugenyi omugwira, n’omupakasi akola awaka, tebakkirizibwa kugiryako.

46 (AG)“Buli ndiga eneerirwanga mu nnyumba emu; ennyama eyo tekuubengako efulumizibwa bweru wa nju eyo. Temumenyanga ku magumba gaayo n’erimu. 47 Abantu bonna aba Isirayiri banaakolanga omukolo guno.

48 (AH)“Omunaggwanga abeera mu mmwe bw’abanga ayagala okukolera Mukama Katonda omukolo gw’Okuyitako, asaana asooke okukomola abantu be aboobulenzi bonna abali mu maka ge, alyoke asembere gye muli yeegatte mu mukolo ogwo; kubanga olwo anaabanga ng’omuzaaliranwa mu nsi omwo. Naye atali mukomole taagiryengako. 49 (AI)Etteeka lye limu lye linaakwatibwanga omuzaaliranwa n’Omunnaggwanga abeera mu mmwe.”

50 Bwe batyo abaana ba Isirayiri bonna ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni; bwe batyo bonna bwe baakola. 51 (AJ)Awo ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’aggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’e Misiri nga bagendera mu bibinja byabwe.

Footnotes

  1. 12:2 Ekiseera ekyo kiri wakati w’ekitundu ekisembayo eky’omwezi gwa Maaki n’ekitundu ekisooka eky’omwezi gwa Apuli.
  2. 12:11 Engatto tezaayambalibwanga waka, era n’enkoba tezaasibwanga. Omuntu bwe yabiteekangako nga kitegeeza nga bw’asuubira okugenda.
  3. 12:15 Okuyitako kyekuva kuyitibwa embaga ey’omugaati ogutali muzimbulukuse.

The Passover and the Festival of Unleavened Bread(A)

12 The Lord said to Moses and Aaron in Egypt, “This month is to be for you the first month,(B) the first month of your year. Tell the whole community of Israel that on the tenth day of this month each man is to take a lamb[a](C) for his family, one for each household.(D) If any household is too small for a whole lamb, they must share one with their nearest neighbor, having taken into account the number of people there are. You are to determine the amount of lamb needed in accordance with what each person will eat. The animals you choose must be year-old males without defect,(E) and you may take them from the sheep or the goats. Take care of them until the fourteenth day of the month,(F) when all the members of the community of Israel must slaughter them at twilight.(G) Then they are to take some of the blood(H) and put it on the sides and tops of the doorframes of the houses where they eat the lambs. That same night(I) they are to eat the meat roasted(J) over the fire, along with bitter herbs,(K) and bread made without yeast.(L) Do not eat the meat raw or boiled in water, but roast it over a fire—with the head, legs and internal organs.(M) 10 Do not leave any of it till morning;(N) if some is left till morning, you must burn it. 11 This is how you are to eat it: with your cloak tucked into your belt, your sandals on your feet and your staff in your hand. Eat it in haste;(O) it is the Lord’s Passover.(P)

12 “On that same night I will pass through(Q) Egypt and strike down(R) every firstborn(S) of both people and animals, and I will bring judgment on all the gods(T) of Egypt. I am the Lord.(U) 13 The blood will be a sign for you on the houses where you are, and when I see the blood, I will pass over(V) you. No destructive plague will touch you when I strike Egypt.(W)

14 “This is a day you are to commemorate;(X) for the generations to come you shall celebrate it as a festival to the Lord—a lasting ordinance.(Y) 15 For seven days you are to eat bread made without yeast.(Z) On the first day remove the yeast from your houses, for whoever eats anything with yeast in it from the first day through the seventh must be cut off(AA) from Israel. 16 On the first day hold a sacred assembly, and another one on the seventh day. Do no work(AB) at all on these days, except to prepare food for everyone to eat; that is all you may do.

17 “Celebrate the Festival of Unleavened Bread,(AC) because it was on this very day that I brought your divisions out of Egypt.(AD) Celebrate this day as a lasting ordinance for the generations to come.(AE) 18 In the first month(AF) you are to eat bread made without yeast, from the evening of the fourteenth day until the evening of the twenty-first day. 19 For seven days no yeast is to be found in your houses. And anyone, whether foreigner(AG) or native-born, who eats anything with yeast in it must be cut off(AH) from the community of Israel. 20 Eat nothing made with yeast. Wherever you live,(AI) you must eat unleavened bread.”(AJ)

21 Then Moses summoned all the elders of Israel and said to them, “Go at once and select the animals for your families and slaughter the Passover(AK) lamb. 22 Take a bunch of hyssop,(AL) dip it into the blood in the basin and put some of the blood(AM) on the top and on both sides of the doorframe. None of you shall go out of the door of your house until morning. 23 When the Lord goes through the land to strike(AN) down the Egyptians, he will see the blood(AO) on the top and sides of the doorframe and will pass over(AP) that doorway, and he will not permit the destroyer(AQ) to enter your houses and strike you down.

24 “Obey these instructions as a lasting ordinance(AR) for you and your descendants. 25 When you enter the land(AS) that the Lord will give you as he promised, observe this ceremony. 26 And when your children(AT) ask you, ‘What does this ceremony mean to you?’ 27 then tell them, ‘It is the Passover(AU) sacrifice to the Lord, who passed over the houses of the Israelites in Egypt and spared our homes when he struck down the Egyptians.’”(AV) Then the people bowed down and worshiped.(AW) 28 The Israelites did just what the Lord commanded(AX) Moses and Aaron.

29 At midnight(AY) the Lord(AZ) struck down all the firstborn(BA) in Egypt, from the firstborn of Pharaoh, who sat on the throne, to the firstborn of the prisoner, who was in the dungeon, and the firstborn of all the livestock(BB) as well. 30 Pharaoh and all his officials and all the Egyptians got up during the night, and there was loud wailing(BC) in Egypt, for there was not a house without someone dead.

The Exodus

31 During the night Pharaoh summoned Moses and Aaron and said, “Up! Leave my people, you and the Israelites! Go, worship(BD) the Lord as you have requested. 32 Take your flocks and herds,(BE) as you have said, and go. And also bless(BF) me.”

33 The Egyptians urged the people to hurry(BG) and leave(BH) the country. “For otherwise,” they said, “we will all die!”(BI) 34 So the people took their dough before the yeast was added, and carried it on their shoulders in kneading troughs(BJ) wrapped in clothing. 35 The Israelites did as Moses instructed and asked the Egyptians for articles of silver and gold(BK) and for clothing.(BL) 36 The Lord had made the Egyptians favorably disposed(BM) toward the people, and they gave them what they asked for; so they plundered(BN) the Egyptians.

37 The Israelites journeyed from Rameses(BO) to Sukkoth.(BP) There were about six hundred thousand men(BQ) on foot, besides women and children. 38 Many other people(BR) went up with them, and also large droves of livestock, both flocks and herds. 39 With the dough the Israelites had brought from Egypt, they baked loaves of unleavened bread. The dough was without yeast because they had been driven out(BS) of Egypt and did not have time to prepare food for themselves.

40 Now the length of time the Israelite people lived in Egypt[b] was 430 years.(BT) 41 At the end of the 430 years, to the very day, all the Lord’s divisions(BU) left Egypt.(BV) 42 Because the Lord kept vigil that night to bring them out of Egypt, on this night all the Israelites are to keep vigil to honor the Lord for the generations to come.(BW)

Passover Restrictions

43 The Lord said to Moses and Aaron, “These are the regulations for the Passover meal:(BX)

“No foreigner(BY) may eat it. 44 Any slave you have bought may eat it after you have circumcised(BZ) him, 45 but a temporary resident or a hired worker(CA) may not eat it.

46 “It must be eaten inside the house; take none of the meat outside the house. Do not break any of the bones.(CB) 47 The whole community of Israel must celebrate it.

48 “A foreigner residing among you who wants to celebrate the Lord’s Passover must have all the males in his household circumcised; then he may take part like one born in the land.(CC) No uncircumcised(CD) male may eat it. 49 The same law applies both to the native-born and to the foreigner(CE) residing among you.”

50 All the Israelites did just what the Lord had commanded(CF) Moses and Aaron. 51 And on that very day the Lord brought the Israelites out of Egypt(CG) by their divisions.(CH)

Footnotes

  1. Exodus 12:3 The Hebrew word can mean lamb or kid; also in verse 4.
  2. Exodus 12:40 Masoretic Text; Samaritan Pentateuch and Septuagint Egypt and Canaan