Add parallel Print Page Options

31 (A)Mu kiro ekyo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Musituke! Mutuviire, nze n’abantu bange, mmwe n’abaana ba Isirayiri. Mugende musinze Mukama nga bwe mwansaba. 32 (B)Mutwale amagana gammwe n’ebisibo byammwe nga bwe mwansaba, mugende; nange munsabirangayo omukisa!”

33 (C)Awo Abamisiri ne basindiikiriza abaana ba Isirayiri banguwe okubaviira mu nsi yaabwe; kubanga baagamba nti, “Ffenna tufa tuggwaawo!”

Read full chapter

(A)Awo Mukama n’addamu Musa nti, “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo. Kubanga alibaleka ne bagenda olw’amaanyi, era olw’amaanyi alibagoba mu nsi ye.”

Read full chapter

Okuttibwa kw’Abaana Abamisiri Ababereberye

11 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ekyaliyo ekibonoobono kimu kye nzija okuleetera Falaawo n’ensi y’e Misiri. Oluvannyuma lwakyo ajja kubaleka mugende; ate bw’anaabakkiriza okugenda, ajja kubeegoberako ddala bwegobi abasindiikirize.

Read full chapter