Add parallel Print Page Options

15 (A)Ekibiina kyammwe kyonna kinaabeeranga n’amateeka geegamu, mmwe ge munaakwatanga era n’abagwira abali mu mmwe ge banaakwatanga; eryo linaabanga etteeka ery’enkalakkalira mu mirembe gyammwe gyonna egirijja. Mmwe nga bwe muli n’omugwira bw’atyo bw’anaabanga mu maaso ga Mukama Katonda. 16 (B)Amateeka n’ebiragiro bye munaakwatanga n’omugwira anaabeeranga mu mmwe by’anaakwatanga.”

Read full chapter

29 Munaabeeranga n’etteeka lye limu erinaakozesebwanga ku muntu yenna anaasobyanga nga tagenderedde, bw’anaabanga enzaalwa oba ne bw’anaabanga omugwira bulijjo abeera mu mmwe.

Read full chapter

28 (A)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu.

Read full chapter