Add parallel Print Page Options

11 (A)Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde n’engatto zammwe[a], nga mukutte n’omuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo y’Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:11 Engatto tezaayambalibwanga waka, era n’enkoba tezaasibwanga. Omuntu bwe yabiteekangako nga kitegeeza nga bw’asuubira okugenda.

48 (A)“Omunaggwanga abeera mu mmwe bw’abanga ayagala okukolera Mukama Katonda omukolo gw’Okuyitako, asaana asooke okukomola abantu be aboobulenzi bonna abali mu maka ge, alyoke asembere gye muli yeegatte mu mukolo ogwo; kubanga olwo anaabanga ng’omuzaaliranwa mu nsi omwo. Naye atali mukomole taagiryengako.

Read full chapter

14 (A)“ ‘Omunnaggwanga anaabeeranga mu mmwe bw’anaabanga ayagala okukwata Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda anaagikwatanga ng’agoberera amateeka n’ebiragiro byayo. Munaabanga n’ebiragiro byebimu ebinaagobererwanga bannaggwanga era ne bannansi.’ ”

Read full chapter