Add parallel Print Page Options

Ekiragiro ku Bulongoofu bw’Olusiisira

Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (A)“Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu. (B)Abasajja n’abakazi bonna babafulumyenga ebweru w’olusiisira baleme okulufuula olutali lulongoofu, kubanga omwo mwe mbeera.” Awo abaana ba Isirayiri ne bakolanga bwe batyo ne babafulumyanga ebweru w’olusiisira. Ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Etteeka ly’Okuliwa

Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (C)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Omuntu yenna omusajja oba omukazi bw’anaasobyanga eri munne mu ngeri yonna, bw’atyo anaabanga asobezza eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaabangako omusango, (D)era asaana ayatule ekibi ekyo ky’anaabanga akoze. Anaaliwanga mu bujjuvu olw’ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, n’agattako n’ekitundu ekimu ekyokutaano eky’ebyo by’anaabanga aliye, byonna anaabiwanga oyo gw’anaabanga azizzaako omusango. (E)Naye singa omuntu oyo azzibbwako omusango taabengawo na waaluganda lwa kumpi, eby’okuliwa ebyo binaabanga bya Mukama Katonda era n’endiga ennume ey’okutangiririra oyo eyazza omusango, binaaweebwanga kabona. (F)Era ebirabo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga eri kabona binaabanga bya kabona oyo. 10 (G)Ekirabo kya buli muntu ekitukuvu kinaabanga kikye, naye ekyo ky’anaaleeteranga kabona kinaabanga kya kabona.’ ”

Etteeka ku Bbuba

11 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 12 (H)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Muka omusajja yenna bw’anaakyamanga n’akola ebitali bya bwesigwa eri bba 13 (I)ne yeebaka n’omusajja omulala nga bba tategedde, omusajja oyo n’amusobyako, ekikolwa ekyo ne kitamanyibwa, kubanga tewali mujulizi akirabye era nga tebabakutte nga bakikola; 14 (J)singa omusajja akwatibwa ebbuba n’ateebereza nti osanga mukazi we baamusobezzaako, oba ebbuba ne limukwata newaakubadde nga mukazi we tebaamusobezzaako, 15 (K)kale anaaleetanga mukazi we eri kabona. Anaaleetanga n’ekyokuwaayo ku lwa mukazi we ekitundu kimu eky’ekkumi ekya efa[a] eky’obuwunga bw’emmere eyitibwa sayiri. Obuwunga obwo taabufukengako mafuta ag’omuzeeyituuni wadde okubussaamu ebyakawoowo, kubanga bwe buwunga obuweereddwayo ku nsonga y’ebbuba, nga kye kiweebwayo eky’okujjukiza nti waliwo omusango ogwazzibwa.

16 “Kabona anaasembezanga omukazi oyo n’amuleeta n’amuyimiriza mu maaso ga Mukama Katonda. 17 Anaddiranga amazzi amatukuvu[b] nga gali mu kijaagi eky’ebbumba n’ateeka mu mazzi ago enfuufu gy’anaggyanga wansi mu Weema. 18 (L)Kabona bw’anaamalanga okuyimiriza omukazi oyo mu maaso ga Mukama Katonda, anaamusumululanga enviiri ze n’azita ne zikka, n’amukwasa ekiweebwayo eky’okujjukiza eky’emmere y’empeke ekiweereddwayo olw’obuggya, ye kabona ng’akutte amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo. 19 (M)Kabona anaalayizanga omukazi oyo n’amugamba bw’ati nti, ‘Obanga tewali musajja yenna eyeebase naawe mu kyama n’ofuuka atali mulongoofu songa oli mu bufumbo ewa balo, amazzi agakaawa gano agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi.’ 20 (N)Naye bw’onoowabanga ne weebaka n’omusajja atali balo, bw’otyo ne weeyonoonyesa, 21 (O)wano kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky’ekikolimo n’amugamba nti, ‘Mukama Katonda aleetere abantu bo okukukolimira n’okukuboola bw’anaakoozimbyanga ekisambi kyo n’olubuto lwo n’aluleetera entumbi ne luzimba. 22 (P)Amazzi gano agaleeta ekikolimo gayingirenga mu mubiri gwo gazimbye olubuto lwo era n’ekisambi kyo kikoozimbe.’ 

“Omukazi anaddangamu nti, ‘Amiina, Amiina.’

23 (Q)“ ‘Kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo ku muzingo n’abyozaako mu mazzi agakaawa. 24 Anaanywesanga omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo, era amazzi ago ganaayingiranga mu mukazi oyo ne gamuleetera obulumi n’okubonaabona mu mubiri. 25 (R)Awo kabona anaggyangako omukazi oyo ekiweebwayo eky’empeke olw’obuggya, anaawuubanga ekiweebwayo ekyo eky’empeke mu maaso ga Mukama Katonda, n’akireeta ku kyoto. 26 Kabona anaddiranga olubatu lw’obuwunga obw’ekiweebwayo ng’ekiweebwayo olw’okujjukira n’akyokya ku kyoto; ebyo nga biwedde anaanywesanga omukazi amazzi gali. 27 (S)Bw’anaamalanga okumunywesa amazzi ago, kale bw’anaabanga yeeyonoonyesezza nga tabadde mwesigwa eri bba, amazzi ago agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu mubiri gw’omukazi oyo ne gamuleetera obulumi obubalagala; olubuto lwe lunaazimbulukukanga n’ekisambi kye ne kikoozimba, era anaafuukanga omukolimire mu bantu b’ewaabwe. 28 Naye omukazi oyo bw’anaabanga teyeeyonoonyesa nga mulongoofu, kale taabeerengako musango, era anaabanga wa ddembe okuzaala abaana.’

29 (T)“ ‘Eryo lye tteeka ery’obuggya, omukazi bw’anaakyamanga ne yeeyonoona songa mufumbo aliko bba, 30 oba omusajja bw’anaayingirangamu omwoyo ogw’ebbuba, n’akwatirwa mukazi we obuggya; kale anaaleetanga mukazi we oyo eri Mukama Katonda, kabona n’alyoka assa etteeka eryo mu nkola ku mukazi oyo. 31 (U)Balo taabengako kyonoono ku nsonga ezo wabula mukazi we y’anaabangako omusango olw’okwonoona kwe.’ ”

Footnotes

  1. 5:15 ze liita nga bbiri
  2. 5:17 Amazzi amatukuvu Nga galimu enfuufu ge gaakozesebwanga mu ngeri ey’obwakatonda mu kusalira omuntu omusango.

The Purity of the Camp

The Lord said to Moses, “Command the Israelites to send away from the camp anyone who has a defiling skin disease[a](A) or a discharge(B) of any kind, or who is ceremonially unclean(C) because of a dead body.(D) Send away male and female alike; send them outside the camp so they will not defile their camp, where I dwell among them.(E) The Israelites did so; they sent them outside the camp. They did just as the Lord had instructed Moses.

Restitution for Wrongs

The Lord said to Moses, “Say to the Israelites: ‘Any man or woman who wrongs another in any way[b] and so is unfaithful(F) to the Lord is guilty(G) and must confess(H) the sin they have committed. They must make full restitution(I) for the wrong they have done, add a fifth of the value to it and give it all to the person they have wronged. But if that person has no close relative to whom restitution can be made for the wrong, the restitution belongs to the Lord and must be given to the priest, along with the ram(J) with which atonement is made for the wrongdoer.(K) All the sacred contributions the Israelites bring to a priest will belong to him.(L) 10 Sacred things belong to their owners, but what they give to the priest will belong to the priest.(M)’”

The Test for an Unfaithful Wife

11 Then the Lord said to Moses, 12 “Speak to the Israelites and say to them: ‘If a man’s wife goes astray(N) and is unfaithful to him 13 so that another man has sexual relations with her,(O) and this is hidden from her husband and her impurity is undetected (since there is no witness against her and she has not been caught in the act), 14 and if feelings of jealousy(P) come over her husband and he suspects his wife and she is impure—or if he is jealous and suspects her even though she is not impure— 15 then he is to take his wife to the priest. He must also take an offering of a tenth of an ephah[c](Q) of barley flour(R) on her behalf. He must not pour olive oil on it or put incense on it, because it is a grain offering for jealousy,(S) a reminder-offering(T) to draw attention to wrongdoing.

16 “‘The priest shall bring her and have her stand before the Lord. 17 Then he shall take some holy water in a clay jar and put some dust from the tabernacle floor into the water. 18 After the priest has had the woman stand before the Lord, he shall loosen her hair(U) and place in her hands the reminder-offering, the grain offering for jealousy,(V) while he himself holds the bitter water that brings a curse.(W) 19 Then the priest shall put the woman under oath and say to her, “If no other man has had sexual relations with you and you have not gone astray(X) and become impure while married to your husband, may this bitter water that brings a curse(Y) not harm you. 20 But if you have gone astray(Z) while married to your husband and you have made yourself impure by having sexual relations with a man other than your husband”— 21 here the priest is to put the woman under this curse(AA)—“may the Lord cause you to become a curse[d] among your people when he makes your womb miscarry and your abdomen swell. 22 May this water(AB) that brings a curse(AC) enter your body so that your abdomen swells or your womb miscarries.”

“‘Then the woman is to say, “Amen. So be it.(AD)

23 “‘The priest is to write these curses on a scroll(AE) and then wash them off into the bitter water. 24 He shall make the woman drink the bitter water that brings a curse, and this water that brings a curse and causes bitter suffering will enter her. 25 The priest is to take from her hands the grain offering for jealousy, wave it before the Lord(AF) and bring it to the altar. 26 The priest is then to take a handful of the grain offering as a memorial[e] offering(AG) and burn it on the altar; after that, he is to have the woman drink the water. 27 If she has made herself impure and been unfaithful to her husband, this will be the result: When she is made to drink the water that brings a curse and causes bitter suffering, it will enter her, her abdomen will swell and her womb will miscarry, and she will become a curse.(AH) 28 If, however, the woman has not made herself impure, but is clean, she will be cleared of guilt and will be able to have children.

29 “‘This, then, is the law of jealousy when a woman goes astray(AI) and makes herself impure while married to her husband, 30 or when feelings of jealousy(AJ) come over a man because he suspects his wife. The priest is to have her stand before the Lord and is to apply this entire law to her. 31 The husband will be innocent of any wrongdoing, but the woman will bear the consequences(AK) of her sin.’”

Footnotes

  1. Numbers 5:2 The Hebrew word for defiling skin disease, traditionally translated “leprosy,” was used for various diseases affecting the skin.
  2. Numbers 5:6 Or woman who commits any wrong common to mankind
  3. Numbers 5:15 That is, probably about 3 1/2 pounds or about 1.6 kilograms
  4. Numbers 5:21 That is, may he cause your name to be used in cursing (see Jer. 29:22); or, may others see that you are cursed; similarly in verse 27.
  5. Numbers 5:26 Or representative