Add parallel Print Page Options

17 (A)Tekiiyokerwengamu kizimbulukusa. Nkibawadde nga kye kinaabanga omugabo gwabwe ogw’oku biweebwayo byange ebyokebwa, kye kintu ekitukuvu ennyo okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo olw’omusango.

Read full chapter

(A)Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kyokka kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu. Kiweebwayo kitukuvu nnyo. (B)Ebiragiro ebikwata ku kiweebwayo olw’omusango bye bimu n’ebikwata ku kiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaakozesanga ebiweebwayo ebyo olw’okutangiririra, y’anaabitwalanga. Kabona anaaweerangayo omuntu yenna ekiweebwayo kye ekyokebwa, y’aneesigalizanga eddiba ly’ekiweebwayo ekyo. (C)Era buli kiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaafumbibwanga mu oveni n’ekyo kyonna ekinaateekerwateekerwanga ku fulampeni oba ku lukalango, kabona oyo akiwaddeyo y’anaakitwalanga. 10 Era na buli kiweebwayo eky’empeke ekya buli ngeri, nga kitabuddwa mu mafuta ag’omuzeeyituuni oba nga kikalu kyereere, batabani ba Alooni be banaakitwalanga nga bakigabana kyenkanyi buli omu.

Ebiweebwayo olw’Emirembe

11 “ ‘Bino by’ebiragiro eby’ekiweebwayo olw’emirembe omuntu ky’anaawangayo eri Mukama.

12 (D)“ ‘Bw’anaakiwangayo olw’okwebaza, ekiweebwayo ekyo anaakigattirangako zikkeeke ezitabuliddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni kyokka nga temuli kizimbulukusa, n’obusukuuti obw’oluwewere nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, ne zikkeeke ez’obuwunga obulungi ennyo nga zigoyeddwa bulungi mu mafuta. 13 (E)Awamu n’ebiweebwayo bye olw’emirembe n’olw’okwebaza, anaaleeterangako emigaati emifumbe n’ekizimbulukusa. 14 Ku buli kimu ku biweebwayo ebyo anaggyangako omugaati gumu n’aguwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; kabona anaamansiranga omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’emirembe y’anaatwalanga ekiweebwayo ekyo.

Read full chapter