Add parallel Print Page Options

46 (A)Ebbanga lyonna omuntu ly’anaamalanga ng’alina obulwadde obwo anaabeeranga si mulongoofu. Anaasulanga yekka mu nnyumba ye ebweru w’olusiisira.

Read full chapter

(A)“Mugambe abaana ba Isirayiri nti omusajja yenna bw’anaavangamu ebitonnya mu bitundu bye ebyekyama, ebimuvaamu ebyo binaabanga ebitali birongoofu.

Read full chapter

20 (A)omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi, okumala emyaka kkumi n’ebiri, n’ajja emabega we n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kye.

Read full chapter

(A)Kabona anaakeberanga ekifo ekyo awazimbye ku lususu, bw’anaasanganga ng’obwoya obuli awo awazimbye bufuuse bweru, ate nga awalwadde wennyise okusinga olususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, ng’olwo ebyo bigenge. Kabona bw’anaamalanga okumukebera anaalangiriranga nti omuntu oyo si mulongoofu.

Read full chapter

(A)Naye waaliwo abantu abamu abataasobola kukwata Mbaga ey’Okuyitako ku lunaku olwo, kubanga tebaali balongoofu olwokubanga baali bakutte ku mufu. Bwe batyo ne bajja eri Musa ne Alooni ku lunaku olwo lwennyini, ne bagamba Musa nti, “Tetuli balongoofu kubanga twakutte ku mufu; lwaki tugaanibwa okuleetera Mukama ekiweebwayo kye, awamu n’abaana ba Isirayiri, mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa?”

(B)Musa n’abaddamu nti, “Mulinde mmale okumanya Mukama Katonda ky’anandagira ku nsonga yammwe.”

Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 10 (C)“Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omu ku mmwe, oba omu ku bazzukulu bammwe ab’omu mirembe egiriddawo, singa afuuka atali mulongoofu olw’okukwata ku mufu, oba nga taliiwo yagenda olugendo olw’ewala, anaakwatanga Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda.

Read full chapter