Add parallel Print Page Options

Omugabo gwa Simyoni

19 (A)N’akalulu akookubiri kaagwa ku Simyoni, kye kika ky’abaana ba Simyoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali n’omugabo gwabwe bwe gwali mu makkati g’omugabo gw’ekika kya Yuda. (B)Kyali kitwaliramu

Beeruseba, oba Seba, ne Molada, ne Kazalusuwali ne Bala, ne Ezemu, ne Erutoladi ne Besuli, ne Koluma, ne Zikulagi ne Besumalukabosi, ne Kazalususa ne Besulebaosi ne Salukeni ebibuga kkumi na bisatu n’ebyalo byabyo.

(C)Ayini ne Limmoni ne Eseri, ne Asani ebibuga bina n’ebyalo byabyo, (D)n’ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, ye Laama ekiri mu bukiikaddyo.

Ebyo bye bitundu abaana ba Simyoni bye baagabana ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. (E)Ettaka abaana ba Simyoni lye baagabana lyali wamu n’ery’abaana ba Yuda. Kubanga omugabo gw’abaana ba Yuda gwabasukkirira obunene; abaana ba Simyoni kyebaava bagabana wakati mu bitundu by’omugabo gwabwe.

Ensi ya Zebbulooni

10 (F)Akakulu akookusatu ne kagwa ku kika kya Zebbulooni, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

Era n’omugabo gwabwe ne gutuukira ddala ku Salidi. 11 (G)Ensalo yaabwe n’eraga ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka e Malala, n’etuuka n’e Dabbesesi; ng’egendera ku kagga akali ku buvanjuba bwa Yokuneamu. 12 Okuva ebuvanjuba wa Salidi ne yeeyongerayo enjuba gy’eva ng’egendera ku nsalo y’e Kisulosutaboli, ne Daberasi, ne yeebalama Yafiya. 13 (H)Okuva eyo n’edda ebuvanjuba e Gasukeferi, okudda e Esukazini; ne yeeyongerayo e Limmoni, n’edda ku luuyi oluliko Nea. 14 Ne yeebungulula mu bukiikakkono n’etuuka ku Kannasoni n’ekoma mu Kiwonvu kya Ifutakeri; 15 (I)ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu[a], ebibuga kkumi na bibiri, n’ebyalo byabyo.

16 (J)Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Zebbulooni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Isakaali

17 (K)Akalulu akookuna ne kagwa ku Isakaali, lye zadde lya Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali: 18 (L)Omugabo gwabwe gwalimu

Yezuleeri ne Kesulosi ne Sunemu, 19 ne Kafalaimu ne Sioni ne Anakalasi, 20 ne Labbisi ne Kisioni ne Ebezi, 21 ne Lemesi ne Engannimu ne Enkadda ne Besupazzezi.

22 (M)Ensalo n’ekwata ku Taboli ne Sakazuma ne Besusemesi n’ekoma ku mugga Yoludaani.

Ebibuga byonna awamu byali kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.

23 (N)Ogwo gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Aseri

24 (O)N’akalulu akookutaano ne kagwa ku kika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 25 Ekitundu kyabwe kyalimu

Kerukasi ne Kali ne Beteni ne Akusafu, 26 (P)ne Alammereki ne Amadi ne Misali ne kituuka ku Kalumeeri ku luuyi olw’ebuvanjuba ne ku Sikolulibunasi, 27 (Q)ne kidda ebuvanjuba ne kyeyongerayo ku Besudagoni ne kituuka ku Zebbulooni ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw’omu bukiikakkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri ne kikoma ku Kabuli mu bukiikakkono. 28 (R)Ne kyeyongerayo ku Ebuloni ne Lekobu ne Kammoni ne Kana okutuuka ku Sidoni Ekinene. 29 (S)Ensalo n’edda ku Laama n’ekibuga ekiriko ekigo ekya Tuulo ne kyeyongerayo e Kosa n’eryoka ekoma ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu, 30 ne Uma ne Afiki ne Lekobu byonna awamu ebibuga amakumi abiri n’ebyalo byabyo.

31 (T)Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Ensi ya Nafutaali

32 Akalulu akoomukaaga ne kagwa ku Nafutaali, be baana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

33 N’ensalo yaabwe n’eva ku mwera oguli mu Zaanannimu e Kerefu ne Adaminekebu ne Yabuneeri okutuuka ku Lakkumu n’eryoka ekoma ku mugga Yoludaani. 34 N’ewetera ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku Azunnosutaboli ne yeeyongerayo ku Kukkoki, ne yeeyongerayo e Zebbulooni mu bukiikaddyo, n’ekwata ku Aseri mu bugwanjuba, ne ku Yuda ekiri ku Yoludaani ebuvanjuba.

35 (U)N’ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, ne Zeri, ne Kammasi, ne Lakkasi, ne Kinneresi, 36 (V)ne Adama ne Laama ne Kazoli, 37 (W)ne Kasedi ne Ederei, ne Enkazoli, 38 ne Ironi ne Migudaleri, ne Kolemu ne Besuanasi ne Besusemesi,

ebibuga kkumi na mwenda n’ebyalo byabyo.

39 (X)Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Ddaani

40 Akalulu akoomusanvu kaagwa ku kika ky’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 41 N’ekitundu ky’omugabo gwabwe ne kitwaliramu

Zola ne Esutaoli ne Irusemesi 42 (Y)ne Saalabbini ne Ayalooni ne Isula 43 (Z)ne Eroni ne Timuna ne Ekuloni 44 ne Eruteke ne Gibbesoni ne Baalasi 45 (AA)ne Yekudi ne Beneberaki ne Gasulimmoni 46 (AB)ne Meyalakoni ne Lakoni n’ensalo etunuulidde Yafo.

47 (AC)Naye abaana ba Ddaani baalina obuzibu okutwala omugabo gwabwe ne bagenda ne balumba Lesemu ne bakiwangula ne batta abantu baamu n’ekitala ne babeera omwo, ne bakituuma Ddaani ly’erinnya lya jjajjaabwe.

48 (AD)Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

Omugabo gwa Yoswa

49 Nga bamaze okugabana ensi mu bitundu eby’enjawulo abaana ba Isirayiri ne bawa Yoswa mutabani wa Nuuni omugabo mu bo 50 (AE)ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, Timunasusera mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. Omwo mwe yazimba ekibuga mwe yabeera.

51 (AF)Bino bye bitundu Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu b’ebika bya Isirayiri bye bagabana okuyita mu kalulu e Siiro nga beebuuza ku Mukama mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.

Footnotes

  1. 19:15 Besirekemu Ekyogerwako wano si kyekimu ne Besirekemu ekya Yuda (1Sa 17:12; Lus 1:1)

Allotment for Simeon(A)

19 The second lot came out for the tribe of Simeon according to its clans. Their inheritance lay within the territory of Judah.(B) It included:

Beersheba(C) (or Sheba),[a] Moladah,(D) Hazar Shual,(E) Balah, Ezem,(F) Eltolad,(G) Bethul, Hormah,(H) Ziklag,(I) Beth Markaboth, Hazar Susah, Beth Lebaoth and Sharuhen—thirteen towns and their villages;

Ain, Rimmon,(J) Ether and Ashan(K)—four towns and their villages— and all the villages around these towns as far as Baalath Beer (Ramah in the Negev).(L)

This was the inheritance of the tribe of the Simeonites, according to its clans. The inheritance of the Simeonites was taken from the share of Judah,(M) because Judah’s portion was more than they needed. So the Simeonites received their inheritance within the territory of Judah.(N)

Allotment for Zebulun

10 The third lot came up for Zebulun(O) according to its clans:

The boundary of their inheritance went as far as Sarid.(P) 11 Going west it ran to Maralah, touched Dabbesheth, and extended to the ravine near Jokneam.(Q) 12 It turned east from Sarid(R) toward the sunrise to the territory of Kisloth Tabor and went on to Daberath(S) and up to Japhia. 13 Then it continued eastward to Gath Hepher(T) and Eth Kazin; it came out at Rimmon(U) and turned toward Neah. 14 There the boundary went around on the north to Hannathon and ended at the Valley of Iphtah El.(V) 15 Included were Kattath, Nahalal,(W) Shimron,(X) Idalah and Bethlehem.(Y) There were twelve towns and their villages.

16 These towns and their villages were the inheritance of Zebulun,(Z) according to its clans.(AA)

Allotment for Issachar

17 The fourth lot came out for Issachar(AB) according to its clans. 18 Their territory included:

Jezreel,(AC) Kesulloth, Shunem,(AD) 19 Hapharaim, Shion, Anaharath, 20 Rabbith, Kishion,(AE) Ebez, 21 Remeth, En Gannim,(AF) En Haddah and Beth Pazzez. 22 The boundary touched Tabor,(AG) Shahazumah and Beth Shemesh,(AH) and ended at the Jordan. There were sixteen towns and their villages.

23 These towns and their villages were the inheritance of the tribe of Issachar,(AI) according to its clans.(AJ)

Allotment for Asher

24 The fifth lot came out for the tribe of Asher(AK) according to its clans. 25 Their territory included:

Helkath, Hali, Beten, Akshaph,(AL) 26 Allammelek, Amad and Mishal.(AM) On the west the boundary touched Carmel(AN) and Shihor Libnath. 27 It then turned east toward Beth Dagon,(AO) touched Zebulun(AP) and the Valley of Iphtah El,(AQ) and went north to Beth Emek and Neiel, passing Kabul(AR) on the left. 28 It went to Abdon,[b](AS) Rehob,(AT) Hammon(AU) and Kanah,(AV) as far as Greater Sidon.(AW) 29 The boundary then turned back toward Ramah(AX) and went to the fortified city of Tyre,(AY) turned toward Hosah and came out at the Mediterranean Sea(AZ) in the region of Akzib,(BA) 30 Ummah, Aphek(BB) and Rehob.(BC) There were twenty-two towns and their villages.

31 These towns and their villages were the inheritance of the tribe of Asher,(BD) according to its clans.

Allotment for Naphtali

32 The sixth lot came out for Naphtali according to its clans:

33 Their boundary went from Heleph and the large tree in Zaanannim,(BE) passing Adami Nekeb and Jabneel(BF) to Lakkum and ending at the Jordan. 34 The boundary ran west through Aznoth Tabor and came out at Hukkok.(BG) It touched Zebulun(BH) on the south, Asher on the west and the Jordan[c] on the east. 35 The fortified towns were Ziddim, Zer, Hammath,(BI) Rakkath, Kinnereth,(BJ) 36 Adamah, Ramah,(BK) Hazor,(BL) 37 Kedesh,(BM) Edrei,(BN) En Hazor, 38 Iron, Migdal El, Horem, Beth Anath(BO) and Beth Shemesh.(BP) There were nineteen towns and their villages.

39 These towns and their villages were the inheritance of the tribe of Naphtali, according to its clans.(BQ)

Allotment for Dan

40 The seventh lot came out for the tribe of Dan according to its clans. 41 The territory of their inheritance included:

Zorah, Eshtaol,(BR) Ir Shemesh, 42 Shaalabbin, Aijalon,(BS) Ithlah, 43 Elon, Timnah,(BT) Ekron,(BU) 44 Eltekeh, Gibbethon,(BV) Baalath,(BW) 45 Jehud, Bene Berak, Gath Rimmon,(BX) 46 Me Jarkon and Rakkon, with the area facing Joppa.(BY)

47 (When the territory of the Danites was lost to them,(BZ) they went up and attacked Leshem(CA), took it, put it to the sword and occupied it. They settled in Leshem and named(CB) it Dan after their ancestor.)(CC)

48 These towns and their villages were the inheritance of the tribe of Dan,(CD) according to its clans.

Allotment for Joshua

49 When they had finished dividing the land into its allotted portions, the Israelites gave Joshua son of Nun an inheritance among them, 50 as the Lord had commanded. They gave him the town he asked for—Timnath Serah[d](CE) in the hill country of Ephraim. And he built up the town and settled there.

51 These are the territories that Eleazar the priest, Joshua son of Nun and the heads of the tribal clans of Israel assigned by lot at Shiloh in the presence of the Lord at the entrance to the tent of meeting. And so they finished dividing(CF) the land.(CG)

Footnotes

  1. Joshua 19:2 Or Beersheba, Sheba; 1 Chron. 4:28 does not have Sheba.
  2. Joshua 19:28 Some Hebrew manuscripts (see also 21:30); most Hebrew manuscripts Ebron
  3. Joshua 19:34 Septuagint; Hebrew west, and Judah, the Jordan,
  4. Joshua 19:50 Also known as Timnath Heres (see Judges 2:9)