Add parallel Print Page Options

Abadaani Bawamba ekibuga Layisi

18 (A)Mu biro ebyo Isirayiri teyalina kabaka. Era mu biro ebyo ekika ky’Abadaani baali banoonya ekifo aw’okubeera kubanga mu bika bya Isirayiri baali tebafunanga kifo kya kubeeramu ng’omugabo gwabwe.

Read full chapter

(A)Awo abasajja abataano ne bava awo, ne batuuka e Layisi, ne balaba ng’abantu baayo bali mirembe ng’Abasidoni bwe baali. Baali bakkakkamu, nga balina buli kye beetaaga mu nsi, era nga beesudde akabanga n’Abasidoni, nga tewali muntu n’omu gwe bakolagana naye.

Read full chapter

14 (A)Abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ya Layisi ne bagamba baganda baabwe nti, “Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu Efodi n’ebifaananyi ebyole n’ekifaananyi ekisaanuuse? Kale nno mukole kye mugwanira okukola.”

Read full chapter

27 (A)Ne batwala ebintu Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi omwali abantu abakkakkamu abatamanyiridde, ne bakilumba ne batta abantu baamu n’ekitala, n’ekibuga ne bakikumako omuliro.

Read full chapter

29 (A)Ekibuga ne bakikyusa erinnya okuva ku Layisi lye kyayitibwanga olubereberye ne bakituuma Ddaani, ng’erinnya lya Ddaani jjajjaabwe eyazaalibwa Isirayiri bwe lyali.

Read full chapter