Add parallel Print Page Options

30 (A)“Naye kaakano bansekerera;
    abantu abansinga obuto,
bakitaabwe be nnandibadde nteeka
    wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.
Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?
    Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,
abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala,
    bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.
Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka,
    enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe.
Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe,
    ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi.
Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira,
    mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.
Baakaabira mu bisaka ng’ensolo
    ne beekweka mu bikoola by’emiti.
Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa,
    baagobebwa mu nsi.
(B)Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba;
    nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,
10 (C)abatanjagala abanneesalako,
    banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.
11 (D)Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi;
    beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.
12 (E)Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo;
    bategera ebigere byange emitego,
    ne baziba amakubo banzikirize.
13 (F)Banzingiza
    ne banzikiriza,
    nga tewali n’omu abayambye.
14 Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi,
    bayingira nga bayita mu muwaatwa.
15 (G)Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi;
    ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo,
    era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”

Okubonaabona kwa Yobu

16 (H)“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo,
    ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.
17 Ekiro kifumita amagumba gange
    era obulumi bwe nnina tebukoma.
18 Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka,
    n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
19 (I)Ansuula mu bitosi,
    ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.

20 (J)“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu;
    nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21 (K)Onkyukira n’obusungu;
    onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.
22 (L)Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo,
    n’onziza eno n’eri mu muyaga.
23 (M)Mmanyi nga olintuusa mu kufa,
    mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.

24 (N)“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa
    ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.
25 (O)Saakaabira abo abaali mu buzibu?
    Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
26 (P)Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja;
    bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
27 (Q)Olubuto lwange lutokota, terusirika;
    ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
28 (R)Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana;
    nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
29 (S)Nfuuse muganda w’ebibe,
    munne w’ebiwuugulu.
30 (T)Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka;
    n’omubiri gwange gwokerera.
31 (U)Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba
    n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”

30 “But now they mock me,(A)
    men younger than I,
whose fathers I would have disdained
    to put with my sheep dogs.(B)
Of what use was the strength of their hands to me,
    since their vigor had gone from them?
Haggard from want and hunger,
    they roamed[a] the parched land(C)
    in desolate wastelands(D) at night.(E)
In the brush they gathered salt herbs,(F)
    and their food[b] was the root of the broom bush.(G)
They were banished from human society,
    shouted at as if they were thieves.
They were forced to live in the dry stream beds,
    among the rocks and in holes in the ground.(H)
They brayed(I) among the bushes(J)
    and huddled in the undergrowth.
A base and nameless brood,(K)
    they were driven out of the land.(L)

“And now those young men mock me(M) in song;(N)
    I have become a byword(O) among them.
10 They detest me(P) and keep their distance;
    they do not hesitate to spit in my face.(Q)
11 Now that God has unstrung my bow(R) and afflicted me,(S)
    they throw off restraint(T) in my presence.
12 On my right(U) the tribe[c] attacks;
    they lay snares(V) for my feet,(W)
    they build their siege ramps against me.(X)
13 They break up my road;(Y)
    they succeed in destroying me.(Z)
    ‘No one can help him,’ they say.
14 They advance as through a gaping breach;(AA)
    amid the ruins they come rolling in.
15 Terrors(AB) overwhelm me;(AC)
    my dignity is driven away as by the wind,
    my safety vanishes like a cloud.(AD)

16 “And now my life ebbs away;(AE)
    days of suffering grip me.(AF)
17 Night pierces my bones;
    my gnawing pains never rest.(AG)
18 In his great power(AH) God becomes like clothing to me[d];
    he binds me like the neck of my garment.
19 He throws me into the mud,(AI)
    and I am reduced to dust and ashes.(AJ)

20 “I cry out to you,(AK) God, but you do not answer;(AL)
    I stand up, but you merely look at me.
21 You turn on me ruthlessly;(AM)
    with the might of your hand(AN) you attack me.(AO)
22 You snatch me up and drive me before the wind;(AP)
    you toss me about in the storm.(AQ)
23 I know you will bring me down to death,(AR)
    to the place appointed for all the living.(AS)

24 “Surely no one lays a hand on a broken man(AT)
    when he cries for help in his distress.(AU)
25 Have I not wept for those in trouble?(AV)
    Has not my soul grieved for the poor?(AW)
26 Yet when I hoped for good, evil came;
    when I looked for light, then came darkness.(AX)
27 The churning inside me never stops;(AY)
    days of suffering confront me.(AZ)
28 I go about blackened,(BA) but not by the sun;
    I stand up in the assembly and cry for help.(BB)
29 I have become a brother of jackals,(BC)
    a companion of owls.(BD)
30 My skin grows black(BE) and peels;(BF)
    my body burns with fever.(BG)
31 My lyre is tuned to mourning,(BH)
    and my pipe(BI) to the sound of wailing.

Footnotes

  1. Job 30:3 Or gnawed
  2. Job 30:4 Or fuel
  3. Job 30:12 The meaning of the Hebrew for this word is uncertain.
  4. Job 30:18 Hebrew; Septuagint power he grasps my clothing