Add parallel Print Page Options

14 (A)Mukama Katonda n’addamu Musa nti, “Singa kitaawe amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde muswavu okumala ennaku musanvu? Kale mumusibire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; bwe zinaggwaako ayinza okukomezebwawo.”

Read full chapter

(A)kale, nnamwandu wa muganda we anaatambulanga n’alaga awali omusajja oyo mu maaso g’abakulembeze abakulu b’omu kibuga, anaamwambulangamu engatto mu kigere kye ekimu, era anaamuwandiranga amalusu mu maaso n’ayogera nti, “Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku musajja atazimba lunyiriri lwa luggya lwa muganda we.”

Read full chapter

(A)N’awaayo omugongo gwange eri abankuba,
    n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu.
Saakweka maaso gange eri abo abansekerera
    n’eri abo abanfujjira amalusu.

Read full chapter

67 (A)Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi,

Read full chapter