Add parallel Print Page Options

14 (A)Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi
    ndabye ekintu ekibi ennyo.
    Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba.
Bagumya abo abakozi b’ebibi
    ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe.
Bonna bali nga Sodomu gye ndi;
    abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”

Read full chapter

14 (A)Ate bwe ndigamba omwonoonyi nti, ‘Mazima ddala olifa,’ naye n’akyuka okuleka ebibi bye, n’akola ebyalagirwa era ebituufu, 15 (B)era bw’alisasula ebbanja lye, n’azaayo ne bye yabba, n’atambulira mu mateeka agaleeta obulamu, n’atayonoona, mazima ddala aliba mulamu, talifa. 16 (C)Tewaliba ne kimu ku bibi bye yakola ebirijjukirwa eri ye; aliba akoze ebyalagirwa era ebituufu, era aliba mulamu.

Read full chapter