Add parallel Print Page Options

Amateeka ku Bintu by’Abantu

22 (A)“Omuntu bw’anabbanga ente ya munne, oba endiga, n’agitta oba n’agitunda; anazzangawo ente ttaano olw’emu gy’abbye, n’endiga nnya olw’endiga emu.

(B)“Omubbi bw’anaakwatibwanga ng’amenya ennyumba, n’akubibwa emiggo n’afa; amukubye taabengako musango olw’okuyiwa omusaayi gw’omubbi oyo; (C)naye singa ebyo bigwawo ng’enjuba emaze okuvaayo, anaabangako omusango olw’okuyiwa omusaayi ogwo. Omubbi anaateekwanga okuliwa; naye bw’abanga talina kantu, anaatundibwanga alyoke asasulire bye yabba.

(D)“Omubbi singa akwatibwa lubona nga n’ensolo gy’abbye agirina nnamu, oba nte, oba ndogoyi oba ndiga, anazzangawo bbiri bbiri.

Read full chapter

(A)“Omuntu bw’anaayonoonanga n’amenya obwesigwa eri Mukama olw’okulimbalimba munne ku kye yamuteresa, oba kye yamukwasa, oba omuntu oyo kye yabba; oba bw’anabbiranga munne, (B)oba bw’anaazuulanga ebyali bibuze naye n’alimba; oba bw’anaalayiranga eby’obulimba, oba bw’anaayonoonanga mu bintu ng’ebyo byonna abantu mwe batera okwonoona, (C)bw’anaayonoonanga bw’atyo anaabangako omusango; kinaamusaaniranga okuzzaayo ebyo bye yabba oba bye yanyaga, oba bye yateresebwa oba ebyo ebyali bibuze naye n’abizuula, (D)oba ekintu kyonna kye yalayirirako eby’obulimba. Anaaliwanga mu bujjuvu era anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano eky’ebyo by’aliwa; bw’atyo anaabiddizanga nnyinibyo ku lunaku omuntu oyo lw’anaaleeterangako ekiweebwayo olw’omusango.

Read full chapter

11 (A)Nabawa ebiragiro byange ne mbamanyisa n’amateeka gange, omuntu yenna bw’abigoberera abeere mulamu.

Read full chapter

(A)Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”

Read full chapter