Add parallel Print Page Options

30 (A)“Ekigambo eky’ekitalo
    era eky’ekivve kigudde mu nsi:

Read full chapter

23 (A)Kubanga bakoze eby’ekivve mu Isirayiri; bakoze obwenzi ne baka baliraanwa baabwe era ne boogera eby’obulimba mu linnya lyange, bye sibagambanga kwogera. Nkimanyi era ndi mujulirwa ku ekyo,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

22 (A)Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe,

Read full chapter

20 Awo Mukama n’agamba nti, “Olw’okunkaabirira okusukkiridde olw’ebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo,

Read full chapter

(A)Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
    twandifuuse nga Ggomola.

10 (B)Muwulirize ekigambo kya Katonda
    mmwe abafuzi ba Sodomu!
Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe
    mmwe abantu b’e Ggomola!

Read full chapter

16 (A)Omusajja oyo abeere ng’ebibuga Mukama bye yamenyaamenya
    awatali kusaasira kwonna.
Okukaaba kuwulirwe ku makya,
    ne nduulu z’abalwanyi mu ttuntu.

Read full chapter