Add parallel Print Page Options

(A)Omutima gwabwe mulimba,
    era ekiseera kituuse omusango gubasinge.
Mukama alimenya ebyoto byabwe,
    era alizikiriza empagi zaabwe.

Read full chapter

14 (A)Tebankaabira n’emitima gyabwe,
    wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe.
Bakuŋŋaana awamu olw’emmere ey’empeke ne wayini,
    naye ne banjeemera.

Read full chapter

(A)Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe
    ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe,
    ne kikomya enteekateeka zaabwe.

Read full chapter

12 (A)Kazayeeri n’abuuza nti, “Kiki ekikaabya mukama wange?” Erisa n’amuddamu nti, “Kubanga mmanyi obubi bw’olikola Abayisirayiri; olikuma omuliro ku bigo byabwe, n’otta abavubuka baabwe n’ekitala, n’osesebbulira abaana abato ku ttaka, era n’obaaga n’abakyala abali embuto.”

Read full chapter

14 (A)olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu,
    n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa,
nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo,
    abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.

Read full chapter

16 (A)Mu kiseera ekyo Menakemu n’alumba Tifusa n’azikiriza buli muntu eyalimu, na buli kintu ekyali kikirinaanye ng’atandikira ku nsalo yaakyo ne Tiruza, kubanga tebaamwaniriza. Abakyala abaali embuto nabo n’abatta ng’ababaaga.

Read full chapter

16 (A)N’abaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba;
    ennyumba zaabwe zinyagibwe, n’abakazi baabwe bakwatibwe olw’empaka.

Read full chapter