Add parallel Print Page Options

21 (A)Awo Eriya n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Mulituusa wa okutta aganaaga? Obanga Mukama ye Katonda mumugoberere, naye obanga Baali ye Katonda mugoberere oyo.”

Naye abantu ne batamuddamu kigambo na kimu.

Read full chapter

16 (A)Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
    kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
    n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”

Read full chapter

(A)Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo,
    kye kibi kya Isirayiri.
Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe,
    ne gabibikka.
Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,”
    n’obusozi nti, “Mutugweko.”

Read full chapter

13 (A)N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza.
    Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga;
temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda
    be mwekoledde n’emikono gyammwe.

Read full chapter