1 Bassekabaka 19:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Era Yeeku anatta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Kazayeeri, ate Erisa ye n’atta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Yeeku.
Read full chapter
2 Bassekabaka 10:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Mu biro ebyo Mukama n’atandika okukendeeza ensalo za Isirayiri. Kazayeeri n’abawangula ng’atandikira
Read full chapter
2 Bassekabaka 12:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Mu biro ebyo Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’alumba ekibuga ky’e Gaasi, n’akiwamba, n’oluvannyuma n’atandika okulumba n’e Yerusaalemi.
Read full chapter
2 Bassekabaka 13:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri, n’abawaayo okubeera wansi ow’omukono gwa Kazayeeri kabaka w’e Busuuli ne Benikadadi mutabani we.
Read full chapter
2 Bassekabaka 13:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Mukama teyalekerawo ggye lya Yekoyakaazi kintu okuggyako abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano, n’amagaali kkumi, n’abaserikale ab’ebigere omutwalo gumu, kubanga kabaka w’e Busuuli yabizikiriza, n’abifuula ng’enfuufu ey’omu gguuliro.
Read full chapter
Zabbuli 137:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Footnotes
- 137:9 Okukakasa nga tewaba n’omu ku b’omu kibuga ekiwambiddwa asigalawo, abaakiwambanga baabetentanga emitwe gy’abaana abato ab’omu kibuga ekyo ku lwazi
Isaaya 13:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)N’abaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba;
ennyumba zaabwe zinyagibwe, n’abakazi baabwe bakwatibwe olw’empaka.
Koseya 13:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”
Nakkumu 3:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.
Abakungu baakyo baakubirwa obululu,
n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.
Lukka 19:44
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
44 (A)ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”
Read full chapter
Olubereberye 34:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 N’obugagga bwonna, n’abaana bonna awamu n’abakazi, na buli ekyali mu mayumba, byonna ne babiwamba ne babinyaga.
Read full chapter
2 Bassekabaka 15:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Mu kiseera ekyo Menakemu n’alumba Tifusa n’azikiriza buli muntu eyalimu, na buli kintu ekyali kikirinaanye ng’atandikira ku nsalo yaakyo ne Tiruza, kubanga tebaamwaniriza. Abakyala abaali embuto nabo n’abatta ng’ababaaga.
Read full chapter
Amosi 1:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye,
yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.