Add parallel Print Page Options

46 (A)n’ekisenge ekyolekera Obukiikakkono kya bakabona abavunaanyizibwa ekyoto. Abo be batabani ba Zadooki, era be Baleevi bokka abasobola okusemberera Mukama okumuweereza.”

Read full chapter

17 (A)“Lwaki ekiweebwayo ekyo olw’ekibi temwakiriiridde, wali awatukuvu? Kitukuvu nnyo. Kyabaweereddwa kiryoke kiggyiseeko abantu bonna ebibi byabwe, nga mmwe mubatangiririra awali Mukama Katonda.

Read full chapter

25 (A)“Tegeeza Alooni ne batabani be nti bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’ekibi. Ekiweebwayo olw’ekibi kinattirwanga mu maaso ga Mukama awo wennyini ebiweebwayo ebyokebwa we bittirwa; kiweebwayo kitukuvu nnyo.

Read full chapter

13 (A)Omwana gw’endiga ogwo anaaguttiranga mu kifo ekitukuvu, ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo ekyokebwa we bittirwa. Okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi, ekiweebwayo olw’omusango nakyo kinaabanga kya kabona; nga kitukuvu nnyo.

Read full chapter

Emmere ku Kwawulibwa

31 “Ojja kuddira endiga y’okwawulibwa, ofumbe ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu;

Read full chapter

29 (A)Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kiweebwayo kitukuvu nnyo.

Read full chapter

(A)Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kyokka kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu. Kiweebwayo kitukuvu nnyo.

Read full chapter

Etteeka ery’Okulya Emmere Entukuvu

12 (A)Awo Musa n’agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abaali basigaddewo, nti, “Mutwale ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekyasigaddewo ku biweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda nga si kizimbulukuse, mukiriire okumpi n’ekyoto kubanga kitukuvu nnyo. 13 Mukiriire mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo, era gwe mugabo gw’abatabani bo, nga guva ku kiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.

Read full chapter

(A)Ku biweebwayo byonna ebitukuvu ennyo ebitayokeddwa mu muliro kunaabangako ebibyo. Omugabo gwo ne batabani bo gunaavanga ku birabo ebitukuvu ennyo abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga: ebiweebwayo eby’emmere y’empeke oba ebiweebwayo olw’ekibi, oba ebiweebwayo olw’omusango. 10 (B)Omugabo ogwo onooguliiranga mu kifo ekitukuvu ennyo, era buli musajja anaagulyangako. Osaana okitegeere ng’ebyo bitukuvu nnyo.

Read full chapter