Add parallel Print Page Options

Etteeka ery’Ekiweebwayo eky’Empeke

(A)“ ‘Omuntu yenna bw’anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke; empeke anaamalanga kuzisa, n’aleeta obuwunga obulungi. Anaabufukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ateekako n’obubaane,

Read full chapter

25 (A)“Tegeeza Alooni ne batabani be nti bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’ekibi. Ekiweebwayo olw’ekibi kinattirwanga mu maaso ga Mukama awo wennyini ebiweebwayo ebyokebwa we bittirwa; kiweebwayo kitukuvu nnyo.

Read full chapter

15 (A)“Omuntu bw’anazzanga omusango ng’asobezza mu bimu ku ebyo ebitukuvu bya Mukama nga tagenderedde, anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo kye olw’omusango, endiga ennume etaliiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye; eneebalirirwanga omuwendo ogugigyamu mu ffeeza, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, ye sekeri[a]. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango.

Read full chapter

Footnotes

  1. 5:15 sekeri yenkanankana gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu

(A)Ebiragiro ebikwata ku kiweebwayo olw’omusango bye bimu n’ebikwata ku kiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaakozesanga ebiweebwayo ebyo olw’okutangiririra, y’anaabitwalanga.

Read full chapter