Add parallel Print Page Options

13 (A)Awo n’aŋŋamba nti, “Ebisenge eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikakkono n’eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikaddyo, by’ebisenge bya bakabona. Bakabona abaweereza mu maaso ga Mukama gye banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo; era eyo gye banaatekanga ebiweebwayo ebitukuvu ennyo, n’ekiweebwayo eky’obutta n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, kubanga ekifo kitukuvu.

Read full chapter

(A)“Mmwe munaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’emirimu gyonna egy’awatukuvu n’egy’Ekyoto, olwo obusungu buleme kuddamu kubuubuukiranga ku baana ba Isirayiri.

Read full chapter

35 (A)Awo kabaka n’afuula Benaya mutabani wa Yekoyaada omukulu w’eggye mu kifo kya Yowaabu, n’afuula ne Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali.

Read full chapter

(A)N’alyoka agamba Koola ne bonna abaali naye nti, “Enkya Mukama Katonda anaalondamu ababe, n’oyo omutukuvu, era anaasembeza omuntu oyo gy’ali. Oyo gw’anaalonda gw’anaasembeza gy’ali.

Read full chapter

19 (A)Muliwaayo ente ennume ento ng’ekiweebwayo olw’ekibi eri bakabona Abaleevi ab’ennyumba ya Zadooki, abampeereza bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

15 (A)“ ‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

(A)Ekyo kye kiriba ekifo ekitukuvu ekya bakabona abaweereza mu watukuvu, era abasemberera Mukama okumuweereza. Kye kiriba ekifo eky’ennyumba zaabwe n’ekigo ekitukuvu eky’Awatukuvu.

Read full chapter

11 (A)Ekifo ekyo kiriba kya bakabona abaatukuzibwa bazzukulu ba Zadooki, abaamperezanga n’obwesigwa ne batawaba ng’abaana ba Isirayiri bwe baakola, era ng’Abaleevi abalala bwe banvaako.

Read full chapter