Add parallel Print Page Options

Ekiweebwayo olwa Bakabona

(A)Ku lunaku olw’omunaana Musa n’ayita Alooni ne batabani be n’abakulembeze ba Isirayiri. N’agamba Alooni nti, “Ddira ennyana eya sseddume eweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi teziriiko kamogo, oziweeyo ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda. Ogambe abaana ba Isirayiri nti, ‘Muddire embuzi ennume eweebwayo olw’ekibi, n’ennyana n’omwana gw’endiga, nga zino zombi zaakamala omwaka gumu obukulu era nga teziriiko kamogo, nga za kiweebwayo ekyokebwa; (B)era n’ente eya sseddume n’endiga ennume eby’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni, byonna mubiweeyo nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda; kubanga ku lunaku lwa leero Mukama Katonda ajja kubalabikira.’ ” Bwe batyo ne baleeta byonna Musa bye yabalagira okuleeta mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Abantu bonna, kye kibiina ekinene, ne basembera ne bayimirira awali Mukama Katonda. (C)Musa n’alyoka abagamba nti, “Kino kye kyo Mukama Katonda kye yabagambye okukola, era ekitiibwa kya Mukama kijja kubalabikira.” (D)Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Sembera ku kyoto oweeyo ekiweebwayo kyo olw’ebyonoono byo, n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa, olyoke weetangiririre awamu n’abantu era oleete ekiweebwayo eky’abantu; obatangiririre; nga Mukama Katonda bwe yalagidde.”

(E)Awo Alooni n’asembera ku kyoto, n’atta ennyana ey’ekiweebwayo kye olw’ebyonoono bye. (F)Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’annyika olunwe lwe mu musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto, n’afuka omusaayi ku ntobo y’ekyoto. 10 N’addira amasavu n’ensigo n’ebibikka ku kibumba eby’omu kiweebwayo olw’ekibi, n’abyokera ku kyoto, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. 11 (G)Ennyama n’eddiba n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira.

12 Alooni n’atta ekiweebwayo ekyokebwa; batabani be ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula. 13 (H)Ne bamuleetera ebifi eby’ekiweebwayo ekyokebwa nga n’omutwe kweguli; byonna n’abyokera ku kyoto. 14 N’ayoza ebyenda n’amagulu, n’abyokera wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.

Ekiweebwayo olw’Abantu

15 (I)Awo Alooni n’aleeta ekiweebwayo olw’abantu. Yaddira embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu n’agitta, n’agiwaayo ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, kye yasooka olw’ebibi bye. 16 (J)N’aleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’akiwaayo ng’etteeka bwe liragira. 17 (K)N’aleeta ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’ayoolamu olubatu, n’akyokya ku kyoto okuliraana n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’omu makya.

18 (L)Ente ya sseddume n’endiga ennume nazo n’azitta, nga bye biweebwayo olw’emirembe eby’abantu; batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula enjuuyi zonna. 19 Naye amasavu ag’ente eya sseddume n’ago ag’endiga ennume, n’amasavu ag’oku mukira, n’ago agabikka ku byenda, n’ensigo, n’agabikka ku kibumba, 20 ne bateeka amasavu gaabyo ku bifuba by’ensolo ezo, n’ayokya amasavu ago ku kyoto; 21 (M)naye ebifuba n’ekisambi ekya ddyo, Alooni n’abiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, nga Musa bwe yalagira.

22 (N)Awo Alooni n’awanikira abantu emikono gye, n’abasabira omukisa. Bw’atyo Alooni ng’amaze okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo olw’emirembe, n’avaayo ku kyoto. 23 (O)Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna. 24 (P)Omuliro ne gujja nga guva eri Mukama Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa n’amasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ng’amaaso gaabwe gali ku ttaka.

The Priests Begin Their Ministry

On the eighth day(A) Moses summoned Aaron and his sons and the elders(B) of Israel. He said to Aaron, “Take a bull calf for your sin offering[a] and a ram for your burnt offering, both without defect, and present them before the Lord. Then say to the Israelites: ‘Take a male goat(C) for a sin offering,(D) a calf(E) and a lamb(F)—both a year old and without defect—for a burnt offering, and an ox[b](G) and a ram for a fellowship offering(H) to sacrifice before the Lord, together with a grain offering mixed with olive oil. For today the Lord will appear to you.(I)’”

They took the things Moses commanded to the front of the tent of meeting, and the entire assembly came near and stood before the Lord. Then Moses said, “This is what the Lord has commanded you to do, so that the glory of the Lord(J) may appear to you.”

Moses said to Aaron, “Come to the altar and sacrifice your sin offering and your burnt offering and make atonement for yourself and the people;(K) sacrifice the offering that is for the people and make atonement for them, as the Lord has commanded.(L)

So Aaron came to the altar and slaughtered the calf as a sin offering(M) for himself. His sons brought the blood to him,(N) and he dipped his finger into the blood and put it on the horns of the altar; the rest of the blood he poured out at the base of the altar.(O) 10 On the altar he burned the fat, the kidneys and the long lobe of the liver from the sin offering, as the Lord commanded Moses; 11 the flesh and the hide(P) he burned up outside the camp.(Q)

12 Then he slaughtered the burnt offering.(R) His sons handed him the blood,(S) and he splashed it against the sides of the altar. 13 They handed him the burnt offering piece by piece, including the head, and he burned them on the altar.(T) 14 He washed the internal organs and the legs and burned them on top of the burnt offering on the altar.(U)

15 Aaron then brought the offering that was for the people.(V) He took the goat for the people’s sin offering and slaughtered it and offered it for a sin offering as he did with the first one.

16 He brought the burnt offering and offered it in the prescribed way.(W) 17 He also brought the grain offering, took a handful of it and burned it on the altar in addition to the morning’s burnt offering.(X)

18 He slaughtered the ox and the ram as the fellowship offering for the people.(Y) His sons handed him the blood, and he splashed it against the sides of the altar. 19 But the fat portions of the ox and the ram—the fat tail, the layer of fat, the kidneys and the long lobe of the liver— 20 these they laid on the breasts, and then Aaron burned the fat on the altar. 21 Aaron waved the breasts and the right thigh before the Lord as a wave offering,(Z) as Moses commanded.

22 Then Aaron lifted his hands toward the people and blessed them.(AA) And having sacrificed the sin offering, the burnt offering and the fellowship offering, he stepped down.

23 Moses and Aaron then went into the tent of meeting.(AB) When they came out, they blessed the people; and the glory of the Lord(AC) appeared to all the people. 24 Fire(AD) came out from the presence of the Lord and consumed the burnt offering and the fat portions on the altar. And when all the people saw it, they shouted for joy and fell facedown.(AE)

Footnotes

  1. Leviticus 9:2 Or purification offering; here and throughout this chapter
  2. Leviticus 9:4 The Hebrew word can refer to either male or female; also in verses 18 and 19.