Add parallel Print Page Options

Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Emirembe

(A)“ ‘Omuntu bw’anaaleetanga ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, ekiweebwayo ekyo nga kya nte nnume oba nkazi gy’aggye mu kiraalo kye, ente eyo tebeerengako kamogo. (B)Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo anaakwatanga omutwe gwakyo n’akittira ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; batabani ba Alooni, bakabona, ne balyoka bamansira omusaayi ku kyoto okukyebungulula. (C)Omu ku bakabona anaggyanga ebintu bino mu kiweebwayo olw’emirembe ekireeteddwa nga kyokeddwa mu muliro, nga kye kiweebwayo eri Mukama; anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. (D)Kale batabani ba Alooni banaabyokeranga kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

(E)“ ‘Omuntu anaggyanga mu kisibo kye ekisolo ekisajja oba ekikazi nga tekiriiko kamogo, n’akiwaayo eri Mukama. (F)Bw’anaaleetanga endiga ento nga kye kiweebwayo kye eri Mukama, (G)anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. Mu kiweebwayo olw’emirembe ky’anaaleetanga okuwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama nga kyokebwa mu muliro, anaggyangamu bino n’abiwaayo eri Mukama: anaawangayo amasavu n’omukira gwonna n’amasavu gaagwo, nga gusaliddwako okumpi n’omugongo, n’amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, 10 n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba, nga biggyibwako wamu n’ensigo. 11 (H)Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo eri Mukama nga kyokeddwa mu muliro.

Read full chapter