Add parallel Print Page Options

Etteeka ery’Ekiweebwayo nga Kabona y’Ayonoonye

Awo Mukama n’ayogera ne Musa n’amugamba nti, (A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti: ‘Bino bye biragiro eri buli muntu anaasobyanga ku mateeka ga Mukama nga tagenderedde, n’akola ekintu kyonna Mukama kye yalagira obutakikolanga.

(B)“ ‘Singa Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ayonoona, bw’atyo abantu n’abaleetako omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze, anaaleeteranga Mukama ente ennume entoototo etaliiko kamogo, nga kye kiweebwayo eri Mukama olw’ekibi. (C)Sseddume eyo anaagireetanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu maaso ga Mukama; anaagikwatanga omutwe gwayo n’agittira awo mu maaso ga Mukama. (D)Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatoolangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansirako emirundi musanvu awo eggigi ery’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama. (E)Awo kabona anaddiranga ku musaayi, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto okwoterezebwa obubaane obw’akawoowo, ekiri mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi gwa sseddume ogunaasigalangawo gwonna, anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. (F)Amasavu gonna aganaabanga mu sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, anaagaggyangako: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, (G)n’ensigo zombi n’amasavu agazirimu okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba ng’abiggyirako wamu n’ensigo, 10 (nga bwe biggyibwa ku nte ey’ekiweebwayo olw’emirembe), bw’atyo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 11 (H)Naye eddiba lya sseddume eyo n’ennyama yaayo yonna, n’omutwe gwayo, n’amagulu gaayo, n’eby’omu nda byayo nga n’ebyenda kwebiri, awamu n’obusa bwayo, 12 (I)ye sseddume yonna, anaagitwalanga wabweru w’olusiisira mu kifo ekiyonjo awayiyibwa evvu ly’ekyoto, anaatindiranga enku n’akuma omuliro n’agyokeranga okwo.

Read full chapter