Add parallel Print Page Options

Etteeka ery’Ekiweebwayo nga Kabona y’Ayonoonye

Awo Mukama n’ayogera ne Musa n’amugamba nti, (A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti: ‘Bino bye biragiro eri buli muntu anaasobyanga ku mateeka ga Mukama nga tagenderedde, n’akola ekintu kyonna Mukama kye yalagira obutakikolanga.

(B)“ ‘Singa Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ayonoona, bw’atyo abantu n’abaleetako omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze, anaaleeteranga Mukama ente ennume entoototo etaliiko kamogo, nga kye kiweebwayo eri Mukama olw’ekibi. (C)Sseddume eyo anaagireetanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu maaso ga Mukama; anaagikwatanga omutwe gwayo n’agittira awo mu maaso ga Mukama. (D)Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatoolangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansirako emirundi musanvu awo eggigi ery’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama. (E)Awo kabona anaddiranga ku musaayi, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto okwoterezebwa obubaane obw’akawoowo, ekiri mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi gwa sseddume ogunaasigalangawo gwonna, anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. (F)Amasavu gonna aganaabanga mu sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, anaagaggyangako: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, (G)n’ensigo zombi n’amasavu agazirimu okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba ng’abiggyirako wamu n’ensigo, 10 (nga bwe biggyibwa ku nte ey’ekiweebwayo olw’emirembe), bw’atyo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 11 (H)Naye eddiba lya sseddume eyo n’ennyama yaayo yonna, n’omutwe gwayo, n’amagulu gaayo, n’eby’omu nda byayo nga n’ebyenda kwebiri, awamu n’obusa bwayo, 12 (I)ye sseddume yonna, anaagitwalanga wabweru w’olusiisira mu kifo ekiyonjo awayiyibwa evvu ly’ekyoto, anaatindiranga enku n’akuma omuliro n’agyokeranga okwo.

Etteeka ery’Ekiweebwayo ng’Abantu Bonna Boonoonye

13 (J)“ ‘Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe kinaayonoonanga nga tekigenderedde, ne kikola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ekibiina ne bwe kinaabanga tekitegedde nti kisobezza, banaabanga bazzizza omusango. 14 (K)Ekibi ekikoleddwa bwe kinaategeerekekanga, ekibiina kinaaleetanga sseddume y’ente entoototo mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. 15 (L)Abakulembeze b’ekibiina banassanga emikono gyabwe ku mutwe gwa sseddume eyo mu maaso ga Mukama, sseddume eyo n’ettirwa mu maaso ga Mukama. 16 (M)Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatwalangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 17 (N)Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansira emirundi musanvu awo eggigi ly’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama. 18 (O)Anaddiranga ku musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto ekiri mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi ogunaasigalangawo gwonna anaagufukanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 19 (P)Anaggyangamu amasavu gaayo gonna n’agookera ku kyoto, 20 (Q)n’akola ku sseddume eno nga bwe yakola ku sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi. Bw’atyo kabona anaatangiririranga abantu bonna mu kibiina, era ne basonyiyibwa. 21 (R)Anaafulumyanga sseddume eno ebweru w’olusiisira n’agyokya nga bwe yayokya sseddume eri eyasooka. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi ku lw’ekibiina ky’abantu bonna.

Etteeka ery’Ekiweebwayo ng’Omufuzi Ayonoonye

22 (S)“ ‘Omufuzi bw’anaayonoonanga nga tagenderedde n’akola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango. 23 Ekibi ekyo ky’akoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye eky’embuzi ensajja etaliiko kamogo. 24 Anagikwatanga ku mutwe gwayo, n’agittira awo mu maaso ga Mukama we battira ebiweebwayo ebyokebwa. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 25 (T)Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 26 (U)Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto okwo, okufaanana ng’amasavu olw’ekiweebwayo olw’emirembe bwe ganaayokebwanga. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omufuzi oyo olw’ekibi kye, n’asonyiyibwa.

Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Abantu Abaabulijjo

27 (V)“ ‘Omuntu yenna owabulijjo bw’anaayonoonanga nga tagenderedde, n’akola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango. 28 (W)Ekibi ekyo ky’akoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye eky’embuzi enkazi etaliiko kamogo, olw’ekibi ekyo ky’akoze. 29 (X)Anaakwatanga ku mutwe gw’ekiweebwayo ekyo olw’ekibi, n’akittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa. 30 (Y)Awo kabona anaddiranga ku musaayi gwakyo n’olugalo lwe n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 31 (Z)Amasavu gaakyo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu; kabona anaagookeranga ku kyoto ne gavaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.

32 (AA)“ ‘Bw’anaabanga aleese endiga ento ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, anaaleetanga nkazi etaliiko kamogo. 33 (AB)Anaagikwatanga ku mutwe, n’agittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa, nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 34 (AC)Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 35 (AD)Amasavu gaayo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu, era kabona anaagookeranga ku kyoto ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.

The Sin Offering

The Lord said to Moses, “Say to the Israelites: ‘When anyone sins unintentionally(A) and does what is forbidden in any of the Lord’s commands(B)

“‘If the anointed priest(C) sins,(D) bringing guilt on the people, he must bring to the Lord a young bull(E) without defect(F) as a sin offering[a](G) for the sin he has committed.(H) He is to present the bull at the entrance to the tent of meeting before the Lord.(I) He is to lay his hand on its head and slaughter it there before the Lord. Then the anointed priest shall take some of the bull’s blood(J) and carry it into the tent of meeting. He is to dip his finger into the blood and sprinkle(K) some of it seven times before the Lord,(L) in front of the curtain of the sanctuary.(M) The priest shall then put some of the blood on the horns(N) of the altar of fragrant incense that is before the Lord in the tent of meeting. The rest of the bull’s blood he shall pour out at the base of the altar(O) of burnt offering(P) at the entrance to the tent of meeting. He shall remove all the fat(Q) from the bull of the sin offering—all the fat that is connected to the internal organs, both kidneys with the fat on them near the loins, and the long lobe of the liver, which he will remove with the kidneys(R) 10 just as the fat is removed from the ox[b](S) sacrificed as a fellowship offering.(T) Then the priest shall burn them on the altar of burnt offering.(U) 11 But the hide of the bull and all its flesh, as well as the head and legs, the internal organs and the intestines(V) 12 that is, all the rest of the bull—he must take outside the camp(W) to a place ceremonially clean,(X) where the ashes(Y) are thrown, and burn it(Z) there in a wood fire on the ash heap.(AA)

13 “‘If the whole Israelite community sins unintentionally(AB) and does what is forbidden in any of the Lord’s commands, even though the community is unaware of the matter, when they realize their guilt 14 and the sin they committed becomes known, the assembly must bring a young bull(AC) as a sin offering(AD) and present it before the tent of meeting. 15 The elders(AE) of the community are to lay their hands(AF) on the bull’s head(AG) before the Lord, and the bull shall be slaughtered before the Lord.(AH) 16 Then the anointed priest is to take some of the bull’s blood(AI) into the tent of meeting. 17 He shall dip his finger into the blood and sprinkle(AJ) it before the Lord(AK) seven times in front of the curtain. 18 He is to put some of the blood(AL) on the horns of the altar that is before the Lord(AM) in the tent of meeting. The rest of the blood he shall pour out at the base of the altar(AN) of burnt offering at the entrance to the tent of meeting. 19 He shall remove all the fat(AO) from it and burn it on the altar,(AP) 20 and do with this bull just as he did with the bull for the sin offering. In this way the priest will make atonement(AQ) for the community, and they will be forgiven.(AR) 21 Then he shall take the bull outside the camp(AS) and burn it as he burned the first bull. This is the sin offering for the community.(AT)

22 “‘When a leader(AU) sins unintentionally(AV) and does what is forbidden in any of the commands of the Lord his God, when he realizes his guilt 23 and the sin he has committed becomes known, he must bring as his offering a male goat(AW) without defect. 24 He is to lay his hand on the goat’s head and slaughter it at the place where the burnt offering is slaughtered before the Lord.(AX) It is a sin offering.(AY) 25 Then the priest shall take some of the blood of the sin offering with his finger and put it on the horns of the altar(AZ) of burnt offering and pour out the rest of the blood at the base of the altar.(BA) 26 He shall burn all the fat on the altar as he burned the fat of the fellowship offering. In this way the priest will make atonement(BB) for the leader’s sin, and he will be forgiven.(BC)

27 “‘If any member of the community sins unintentionally(BD) and does what is forbidden in any of the Lord’s commands, when they realize their guilt 28 and the sin they have committed becomes known, they must bring as their offering(BE) for the sin they committed a female goat(BF) without defect. 29 They are to lay their hand on the head(BG) of the sin offering(BH) and slaughter it at the place of the burnt offering.(BI) 30 Then the priest is to take some of the blood with his finger and put it on the horns of the altar of burnt offering(BJ) and pour out the rest of the blood at the base of the altar. 31 They shall remove all the fat, just as the fat is removed from the fellowship offering, and the priest shall burn it on the altar(BK) as an aroma pleasing to the Lord.(BL) In this way the priest will make atonement(BM) for them, and they will be forgiven.(BN)

32 “‘If someone brings a lamb(BO) as their sin offering, they are to bring a female without defect.(BP) 33 They are to lay their hand on its head and slaughter it(BQ) for a sin offering(BR) at the place where the burnt offering is slaughtered.(BS) 34 Then the priest shall take some of the blood of the sin offering with his finger and put it on the horns of the altar of burnt offering and pour out the rest of the blood at the base of the altar.(BT) 35 They shall remove all the fat, just as the fat is removed from the lamb of the fellowship offering, and the priest shall burn it on the altar(BU) on top of the food offerings presented to the Lord. In this way the priest will make atonement for them for the sin they have committed, and they will be forgiven.

Footnotes

  1. Leviticus 4:3 Or purification offering; here and throughout this chapter
  2. Leviticus 4:10 The Hebrew word can refer to either male or female.