Ebyabaleevi 1:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olw’ebibi bye.
Read full chapter
Ebyabaleevi 8:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebiweebwayo olw’ekibi n’Ebiweebwayo Ebyokebwa olwa Bakabona
14 (A)Awo n’aleeta seddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo.
Read full chapter
Ebyabaleevi 8:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekiweebwayo olw’Okwawulibwa kwa Bakabona
22 (A)Awo Musa n’aleeta endiga ennume eyookubiri, nga y’endiga ey’ekiweebwayo olw’okwawulibwa; Alooni ne batabani be ne bagikwata ku mutwe gwayo.
Read full chapter
Okubala 8:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Onooleeta Abaleevi mu maaso ga Mukama, era abaana ba Isirayiri bajja kussa emikono gyabwe ku Baleevi abo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.