Add parallel Print Page Options

34 (A)Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.

Read full chapter

15 (A)Musa n’agitta, n’addira omusaayi gwayo n’agusiiga n’olugalo lwe ku mayembe ag’oku kyoto okukyebungulula, n’atukuza ekyoto. Omusaayi ogwasigalawo n’aguyiwa wansi w’ekyoto, n’akitukuza, okukitangiririra.

Read full chapter

18 (A)Awo n’aleeta endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo.

Read full chapter

Ennaku ez’Okwawulibwa

30 (A)Awo Musa n’addira ku mafuta ag’okwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n’amansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye awamu ne batabani be n’ebyambalo byabwe.

Read full chapter

(A)anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mabbali g’ekyoto. Omusaayi gwonna ogunaabanga gusigaddewo anaaguttululiranga ku ntobo y’ekyoto. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi.

Read full chapter

(A)Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’annyika olunwe lwe mu musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto, n’afuka omusaayi ku ntobo y’ekyoto.

Read full chapter

18 (A)Era anaafulumanga n’ajja ku kyoto ekiri awali Mukama n’akitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gw’ennyana eya seddume ne ku musaayi gw’embuzi n’agusiiga ku mayembe gonna ag’ekyoto.

Read full chapter