Add parallel Print Page Options

35 “Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu. 36 (A)Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.

37 “Munaakwatanga amateeka gange gonna, n’ebiragiro byange byonna, okubitambulirangako. Nze Mukama.”

Read full chapter

11 (A)Minzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama,
    naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.

Read full chapter

10 (A)Munaakozesanga minzaani entuufu okupima ebikalu era n’ebitali bikalu ebiyiika.

Read full chapter

11 (A)Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse,
    alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?

Read full chapter