Add parallel Print Page Options

36 (A)Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.

Read full chapter

13 (A)Tossanga mu nsawo zo mayinja gapima ga ngeri bbiri ez’enjawulo, ng’erimu lizitowa, kyokka nga linnaalyo liwewuka. 14 Tobeeranga na bipima bya ngeri bbiri eby’enjawulo, ng’ekimu kinene, kyokka nga kinnaakyo kitono. 15 (B)Kikugwanira obeerenga n’amayinja agapima obuzito obutuufu, era n’ebipima ebirala eby’amazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa. 16 (C)Kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala abo bonna abakola ebyo ebitali bya bwesigwa.

Read full chapter

10 (A)Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu,
    byombi bya muzizo eri Mukama.

Read full chapter

23 (A)Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama,
    ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.

Read full chapter

11 (A)Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama,
    ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola.

Read full chapter