Add parallel Print Page Options

15 (A)Kikugwanira obeerenga n’amayinja agapima obuzito obutuufu, era n’ebipima ebirala eby’amazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

Read full chapter

11 (A)Minzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama,
    naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.

Read full chapter

(A)Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola,
    era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,

(B)nga mwogera nti,

“Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi,
    tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke,
era ne Ssabbiiti eggwaako ddi,
    tutunde eŋŋaano yaffe?”
Mukozesa minzaani enkyamu
    ne mwongera emiwendo
    ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
(C)mmwe abagula abaavu n’effeeza
    n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto,
    ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.

Read full chapter

10 (A)Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira,
    mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu,
    erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?
11 (B)Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse,
    alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?

Read full chapter

36 (A)Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.

Read full chapter