Add parallel Print Page Options

28 (A)Nebukadduneeza n’ayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we n’alokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo.

Read full chapter

11 (A)Kubanga Mukama aliragira bamalayika be
    bakukuume mu makubo go gonna.
12 (B)Balikuwanirira mu mikono gyabwe;
    oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
13 (C)Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera;
    olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.

Read full chapter

33 (A)abaawangula bakabaka olw’okukkiriza, be baakola eby’obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, era be baabuniza obumwa bw’empologoma,

Read full chapter

11 (A)Awo Peetero bwe yeddamu n’alyoka ategeera bwe bibadde, n’agamba nti, “Ntegeeredde ddala nga Mukama yatumye malayika we n’anziggya mu mukono gwa Kerode, era n’amponya n’eby’akabi byonna Abayudaaya bye babadde bantegekedde.”

Read full chapter

17 (A)Kyokka Mukama waffe yabeera nange, n’ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bw’atyo n’anziggya mu kamwa k’empologoma.

Read full chapter