Add parallel Print Page Options

11 (A)okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya.

“ ‘ “Mukama akugamba nti Mukama Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo.

Read full chapter

Obuwanguzi bwa Dawudi

Oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, n’abafuula abaddu be, n’awamba n’ekibuga kyabwe ekikulu.

(A)Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, n’alagira buli omu ku bo yebake wansi, n’abapimako n’olukoba olupima. Buli eyali ebipimo bibiri yattibwanga, naye oyo eyali ow’ebipimo ebisatu nga y’alama. Abamowaabu[a] ne bafuuka baddu ba Dawudi ne bamuwanga obusuulu. (B)Ate era Dawudi n’awangula Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba, bwe yali nga yeddiza amatwale ge ku Mugga Fulaati.

Read full chapter

Footnotes

  1. 8:2 Abamowaabu baali bazzukulu ba Lutti (Lub 19:37) abaabeeranga mu kitundu eky’ebuvanjuba bw’Ennyanja ey’Omunnyo. Sawulo yali abawangudde era ng’abafufuggazizza (1Sa 14:47). Dawudi bwe yali mu buwaŋŋanguse, abooluganda be, yabaweereza mu Mowaabu (1Sa 22:3-4). Bajjajja ba Dawudi baavanga mu Mowaabu (Lus 1:22; 4:22)

22 (A)Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.”

Read full chapter