Add parallel Print Page Options

28 (A)Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.” 29 (B)Emu n’agiteeka mu Beseri n’endala mu Ddaani. 30 (C)Ekintu ekyo ne kiba kibi nnyo, kubanga abantu baatuuka n’okugenda e Ddaani okusinza ekifaananyi ky’ennyana ekyali kiteekeddwa eyo.

Read full chapter

13 (A)Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,
    ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,
wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera
    awali ekisiikirize ekirungi.
Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,
    ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.

Read full chapter

(A)Ne bwe baliwona okuzikirira,
    Misiri alibakuŋŋaanya,
    ne Menfisi alibaziika.
Eby’obugagga byabwe ebya ffeeza birizika,
n’eweema zaabwe zirimeramu amaggwa.

Read full chapter

(A)Omutima gwabwe mulimba,
    era ekiseera kituuse omusango gubasinge.
Mukama alimenya ebyoto byabwe,
    era alizikiriza empagi zaabwe.

Read full chapter

13 (A)n’olw’ensi ey’abantu bange,
    ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.
Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,
    na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.

Read full chapter

30 (A)“ ‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,”
    n’obusozi nti, “Mutuziike.” ’

Read full chapter

16 (A)Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne mu busungu bw’Omwana gw’Endiga.

Read full chapter