Add parallel Print Page Options

99 (A)Mukama afuga,
    amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
    ensi ekankane.
(B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
    agulumizibwa mu mawanga gonna.
(C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
    Mukama mutukuvu.

Read full chapter

29 (A)Noolwekyo nteeka etteeka nga buli muntu ow’eggwanga lyonna, na buli muntu ow’olulimi lwonna olwa buli ngeri alyogera obubi ku Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, alitemebwatemebwa, n’ennyumba ye erimenyebwamenyebwa, kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.”

Read full chapter

44 (A)“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna.

Read full chapter

34 (A)Oluvannyuma lw’ebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe.

Okufuga kwe tekuliggwaawo,
    n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.

Read full chapter