Add parallel Print Page Options

26 (A)“Nteeka etteeka mu buli kitundu ky’obwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya n’okussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.

“Kubanga ye Katonda omulamu,
    abeerera emirembe gyonna;
n’obwakabaka bwe tebuliggwaawo,
    n’okufuga kwe tekulikoma.

Read full chapter

11 (A)Era nteeka etteeka, omuntu yenna bwalikyusa ekiragiro ekyo, empagi eyazimba ennyumba ye eriggyibwa ku nnyumba ye, era n’awanikibwa ku mpagi eyo. N’ennyumba ye erifuulibwa olubungo olw’ekikolwa ekyo.

Read full chapter

27 (A)Alokola era awonya:
    akola obubonero n’ebyamagero
    mu ggulu ne ku nsi.
Yalokodde Danyeri
    mu mannyo[a] g’empologoma.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 6:27 mannyo: Bayibuli ey’Olungereza eyogera ku maanyi, naye mu Luganda twogera “mannyo ga mpologoma”, kubanga tewaaliwo kulwanagana na mpologoma. Mu buntu empologoma zaali zimusinza amaanyi